Minisita omubeeezi owa Kampala Christopher Kabuye Kyofatogabye awezze nga bwagenda okulwanagana nabelimbise mu kulwananyisa etekateeka ya gavumenti gyeliko okuwandiisa n’okusomesa aba boda boda mu bitundu by’eggwanga ebenjawulo kubanga nti bakizudde nti waliwo abagenda nga basiga obukyaayi mu ba boda baleme kugyenyigiramu nti yakifera.
Bino abayogeredde Kira bwabadde asisisnkanya ebiwayi bya boda boda eby’enjawulo mu division 3 ezikola Kira Municipality okuli Bweyogerere, Namugongo ne, Kira ensisinkano ebadde ku bitebe bya division zino nga yetabiddwamu banna byabufuzi nabakungu ba gavumenti.
Awezze nti bagenda kukwata buli muntu atandise okusiga obukayi mu ntekateeka eno kubanga agezaako kulemesa ntekateeka ya gavumenti nalabula aba boda boda abatagenda kwewandiisa nti atabeere na satifikeeti era nga yamala okwewandiisa n’okusomesebwa ayinza obutadda ku mulimu gwa Boda boda ntekateeka gavumenti gyeliko okulongoosa ebyentambula mu Kampala.
Bosco Buziba ssentebe wa boda boda mu Namugongo division agambye nti etekateeka y’okubawandisa bakyagiwakanya kubanga okubakebera emitwe babera nga ababayise abalalu ate ne ssente zebabasaba nnyingi mnagamba nti engeri gavumenti gyekikulembeddemu yandibadde yebasasaulira buli kimu.