Amawulire

Eyabadde awerekedde mukyala we okufuna obujjanjabi bamufumise ekiso n’afa.

Omusajja eyabadde awerekedde mukyala we okufuna obujjanjabi mu kalwaliro , afumutiddwa ekiso, ekiro n’afa.

Bino bibadde mu zooni ya Kiwogozi mu kabuga k’e Luweero , omutemu atannamanyika bw’afumbikirizza Enos Wamala, n’amufumitira ekiso ku mulyango gw’akalwaliro ka God’s Grace Medical centre n’afiirawo.

Wamala okuttibwa, mukyala we Rehema Nansamba yamaze kumusaba amuwerekereko ekiro, asobole okufuna eddagala oluvannyuma lw’okufuna obulumi mu linnyo , Wamala naye kwe kukkiriza okumuwerekerako ku ssaawa nga 7:00 nga bukya leero.

Kigambibwa nti bwe b’atuuse ku kalwaliro kano, nga wasibe, Nansamba n’agezaako okukonkona nga Wamala ayimiridde ku mabbali, ng’era eyo kigambibwa nti omutemu gye yamusanze n’amufumita ekiso nti n’oluvannyuma  omutemu n’abulawo.

Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima, agambye nti omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaaliro e Luweero , ng’okuyigga omutemu , bwe kukolebwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top