Amawulire

Fortebet Edukiridde Eddwaliro Ly’e Jinja Eby’okulwanyisa Covid-19

Fortebet Edukiridde Eddwaliro Ly’e Jinja Eby’okulwanyisa Covid-19
Fortebet ekyayongera okulaga nga bw’ejja okulwanira awamu ne Bannayuganda okulwanyisa ekirwadde kya COVID-19. Kampuni eno era yazzeemu okugabira eddwaliro ly’e Jinja ebikozesebwa mu kulwanyisa ekirwadde kya COVID-19.

Ebyaweeredwo mwabaddemu eccupa za ssanitayiza ne masiki nga byonna awamu bibalirilwamu obukadde 10.

Ettu lino lyaweeredwayo ambasada wa Fortebet, Alex Muhangi ng’ali wamu n’omwogezi wa Fortebet, John Nanyumba.

Nga yaakamala okukwasibwa ettu lino, principal w’eddwaliro lino, David Ssemakula yagambye nti, “Fortebet ye kkampuni ya bbeetingi esoose okutudduukirira. Kibadde tekibangawo era tuli basanyufu nnyo kubanga obwetaavu bwa sanitayiza ne masiki bwa buli lunaku.”

Muhangi yategeezezza nti, “Eno nkola ya Fortebet okuddiza abantu. Twefiirizza akatono ketulina kubanga tukimanyi bulungi nga ekirwadde kya COVID-19 bwekikyaliwo.

Ate tumanyi nga eddwaliro lino bweliri essaale ennyo mu kulwanyisa COVID-19 mu ttunduttundu ly’ebuvanjuba.”

Kampuni eno era yagabye n’ebirabo ebirala nga reflector jackets, emipiira, emijoozi, enkofiira n’amasimu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top