Ebyobufuzi

Joyce Baagala awakanyizza ensala y’omulamuzi

Joyce Baagala awakanyizza ensala y’omulamuzi

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mubende Emmanuel Baguma ku lw’okutaano nga 22 omwezi guno yasazizaamu okulondebwa kw’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mityana mu palamenti Joyce Baagala Ntwatwa oluvannyuma lw’okukizuula nti akalulu ke ketobekamu emivuyo mingi omuli n’okubba obululu.

Omulamuzi Baguma bwe yabadde awa ensalaye, yategeezezza nti kkooti yasinzidde ku bukakafu obumala nga bulaga nti Baagala ne b’agentibe beenyigira mu kubba obululu.

Minisita we ebye ttaka Judith Nabakooba yagenda mu Kkooti nga awawabira omubaka Joyce Baagala okwekobaana n’akakiiko k’ebyokulonda okubba obululu ssaako okutiisatiisa abalonzibe okulonda mu Gatonnya 14 omwaka guno, akalulu Baagala ke yawangula n’obululu 64633 ate minisita  Nabakooba  n’akwata ekyokubiri n’obululu 4832.

Okusinziira ku Nabakooba, ekambi ya Baagala yatiisatiisa ba agentibe sasako okugaana abamu ku balonzibe okumulonda.

Omulamuzi Emmanuel Baguma yasinzizide ku bino n’asazaamu okulondebwa kwa Baagala era n’alagira akululu k’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Mityana kaddibwemu okulondebwa era n’agalira Baagala aliyirire Nabakooba ssente zonna z’akozeseza mu musango guno.

Wabula Joyce Baagala oluvannyuma lw’okufuna amawulire yategeezezza nga bweyamaze edda okulagira ba pulidabe okujulira mu kkooti ejulirwamu ng’awakanya ensala y’omulamuzi gy’agamba nti yabadde yakyekubiira era nti tagenda ku kkiriza buwanguzi obunye emisana ttuku nti era aja obujulizi bwalina bumala okulwanirira obuwanguzi bw’abantu b’e Mityana.

Kyokka Minisita Nabakooba yabadde musanyufu era ne yeebaza kkooti okusala amazima era nti ky’ekiseera okudda mu balonzi baddemu basalewo.

Bya Hannington Kisakye.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top