Ebyobufuzi

Katikkiro Mayiga asabye abawangaalira ebweru okwekolamu omulimu basige ensimbi

Owek.  Charles Peter Mayiga awadde abantu ba Buganda abawangaalira ebweru  naddala mu Bulaaya ne America okwekolamu omulimu basige ensimbi eyo gyebali kibayambe okwongera okulaakulana.

Owek. Mayiga agamba nti kino kisobola bulungi okwongera okubakulaakulanya n’okuzimba okwaboobwe naye ebyo byonna birina kukolebwa ku nnono y’okwegatta nokukolera awamu.

Katikkiro abadde alambulula ku lugendo lwe lwagendako e Bulaaya okulambula abantu ba Buganda bali mu nsi okuli Norway, Sweden, Netherlands, Scotland gyagenda okuva atuukeko ne mu Bungereza mu kibuga Manchester. Olugendo luno Mukuumaddamula agenda kulumako wiiki 3 nnamba.

Olugendo luno  lwakubaawo mu makati g’omwezi guno nga 17, 2022 era mu lugendo luno, Katikkiro Mayiga asuubirwa okubaako emirimu emitongole gyakolako mu bitundu bino.

Owek. Mayiga annyonyodde nti obwakabaka buli mu nteekateeka yakubaga nnamutaayika mulala Obuganda kwebulina okutambulira ng’ ebirowoozo byabantu ba Buganda abawangaalira e Bulaaya nabyo babyetaaga.

Okusinziira ku nteekateeka ezaakoleddwa, Katikkiro Mayiga ajja kusisinkana abavubuka abawangaalira mu bitundu bino wakati mu kubaako entanda gyabawa n’ensonga lwaki tebasaanye kwerabira nsibuko yabwe.

Omu ku bavubuka abasuubirwa okwaniriza Katikkiro ebunaayira era eyaliko Nnalulungi wa Uganda mu Bungereza,   Jan Nakitende Mukiibi  asabye obwakabaka okubateerewo engeri gyebayinza okwongera okumanya obuwangwa bwabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top