Enfa ya kkansala Henry Kasirye Kavuma owa Civic Center ku lukiiko lwa Kampala Central erese aba NRM nga banyogoze.
Kasirye Kavuma abadde wa NRM kakongoliro era nga mwe yawangulira ekifo kino ekya kkansala wa Civic Center kyabaddeko.
Ono yabadde ssentebe w’ akakiiko k’embeera z’abakozi ku luliiko lwa Kampala Central.
Hajji Abudkarim Lukoda omu ku bakansala banne ku lukiiko lwa Kampala Central ategeezezza nti Kasirye afudde ku ssaawa 6:00 ez’ekiro ekikeesezza Olwokusatu ng’afiiride mu ddwaaliro ly’e Nakasero gy’abadde ajjanjabirwa ekirwade kya kookolo w’omu byenda.
Lukoda ayongende n’ategeeza nti Kasirye alwalidde emyezi ena gyokka ng’abasawo baagenze okukizuila nti alina kookolo w’omu byenda ng’atuuse ku siteegi esembayo.
Omulambo gwe guleeteddwa mu lukiiko lwa Munisipaali ya Kampala Central okumusabira wamu n’okusiima emirimu gy’akoze nga kkansala ku lukiiko lwa Kampala Central.
Omumyuka wa Mmeeya wa Kampala, Hajjati Hanifah Mpungu ategeezezza nti Kasirye y’abadde ow’amawulire ku lukiiko lwa NRM olwa Disitulikiti ya Kampala ,era waakuziikibwa e Lyantonde e Masaka.
Mu July,2022 kkansala wa Kamwokya 2C James Kakooza eyali wa NRM ye yattibwa bwe yali akedde okukola dduyiro ng’ali kumpi ne Centenary Park.