Amawulire

Kkansala wa Kampala Central afudde !

Enfa ya kkansala Henry Kasirye Kavuma owa  Civic Center ku lukiiko lwa Kampala Central  erese aba NRM nga banyogoze.

Kasirye Kavuma abadde wa NRM kakongoliro era nga mwe yawangulira ekifo kino ekya kkansala wa Civic Center kyabaddeko.

Ono yabadde ssentebe w’ akakiiko k’embeera z’abakozi ku luliiko lwa Kampala Central.

Hajji Abudkarim Lukoda omu ku bakansala banne ku lukiiko lwa Kampala Central ategeezezza nti Kasirye afudde ku ssaawa 6:00 ez’ekiro ekikeesezza Olwokusatu ng’afiiride mu ddwaaliro ly’e Nakasero gy’abadde ajjanjabirwa ekirwade kya kookolo w’omu byenda.

Lukoda ayongende n’ategeeza nti Kasirye alwalidde emyezi ena gyokka ng’abasawo baagenze okukizuila nti alina kookolo w’omu byenda ng’atuuse ku siteegi esembayo.

Omulambo gwe guleeteddwa mu lukiiko  lwa Munisipaali ya Kampala Central okumusabira wamu n’okusiima emirimu gy’akoze nga kkansala ku lukiiko lwa Kampala Central.

Omumyuka wa Mmeeya wa Kampala, Hajjati Hanifah Mpungu ategeezezza nti Kasirye y’abadde ow’amawulire ku  lukiiko lwa NRM olwa Disitulikiti ya Kampala ,era waakuziikibwa e Lyantonde e Masaka.

Mu July,2022  kkansala wa Kamwokya 2C James Kakooza  eyali wa NRM ye  yattibwa bwe yali akedde  okukola dduyiro ng’ali kumpi ne Centenary Park.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });