Amawulire

Komya okukyamukiriza Bannayuganda.

Ebigambo by’obusagwa pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bye yayogeredde e Luwero byongedde okunsirikiriza okwegomba engeri pulezidenti Museveni gy’akwatamu ensonga z’obukulembeze mu nsi ekyuse enyo.

Wabula ne kineeraliikiriza nti eggwanga lyaffe lyolekedde akatyabaga k’obutabeera na bakulembeze ab’esa mu kiseera werisingira okubeetagira .

Bobi Wine okukozesa ebigambobyeyayogedde e Luwero ndowooza yabadde agezaako kukuba jjinja mu kisaka awulire ekivaayo ng’amanyi nti ab’ebyokwerinda bagenda kumwanukula wabula kyenkakasa nti ekiseera kyonna wadde yagamba nti tagenda kubyejjusa bigenda kumulondoola abyejjuse.

Olulimi Bobi Wine lweyakozesezza lwatyobodde nyo abantu be yabadde ayogereramu ng’alowooza nti bannayuganda bonna bakazanyirizi.

maaso okwekuba mukifuba yeefumitirize eggwanga lyaffe gyerivudde na wa ye gy’ayagala okulitwala nga kino bwatakikola agenda kwesanyawo yekka ate nga pulezidenti Museveni amuyambye nyo okumuteerawo embeera mwakoledde obugagga obungi bwalina n’okumuterawo emikutu mwayisa amaloboozi ge ag’obusagwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top