Ebyobufuzi

Kyagulanyi asanyukidde eky’omukago gwa Bulaaya okugaana okuwa Uganda ssente z’okusima amafuta

Kyagulanyi asanyukidde eky’omukago gwa Bulaaya okugaana okuwa Uganda ssente z’okusima amafuta

Akulira ekibiina ki Forum for Democratic Change (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine),  asanyukidde eky’omukago gwa Bulaaya okugaana ensi yonna okuwa Uganda ssente z’okusima n’okuzimba omudumu gw’ Amafuta.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku ku kitebe e Kamwokya, Kyagulanyi agambye nti kino kyali kyalwawo kuba ebibuuzo omukago guno byegulina nabo ng’ ekibiina byebalina.

“Tuli basanyufu nti baasobodde okunokolayo ensonga y’okulinyirira eddembe ly’obuntu, Obutonde bwensi awamu n’endala. Okumala ekiseera tubadde tusaba amawanga g’ebweri okukomya okuvujjirira gavumenti ya  Museveni,” Kyagulanyi bw’ategeezezza.

Bobi Wine yeebazizza bannayuganda bawangaalira mu mawanga g’ebweru olw’okulemera ku nsonga kuba Museveni amafuta agatwala nga agage ag’obwannannyini.

Ono agamba nti wadde kino bakisanyukira naye baagala omukago gwa Bulaaya gwongere okuluma kuba Pulezidenti Museveni ne banne bayitiridde okulinyirira eddembe ly’obuntu.

Kino kiddiridde, Palamenti y’omukago gwa Bulaaya ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde okugaana okuteeka ssente mu nteekateeka y’okusima amafuta nga bagamba nti kino kijja kwongera okulinyirira eddembe ly’obuntu.

Bano nga bali wamu basaba kampuni ya TotalEnergies okwongezaayo enteekateeka eno, basobole okukola okunoonyereza okuzuula engeri amafuta gano gyegasobola okusimibwamu nga tegonoonya butonde awamu n’ennyanja eziri mu Uganda ne Tanzania.

Oluvannyuma  lwakino waliwo bannayuganda abalumbye ekitebe ky’omukago gwa Bulaaya mu Kampala ku Lwokubiri ne beekalakaasa ku kyasaliddwawo Palamenti ya Bulaaya.

Wabula Pulezidenti Museveni yakakasizza bannayuganda nga kino bwekitagenda kukosa mulimu kwebaliko era enteekateeka y’okusima amafuta ejja kugenda mu maaso nga bwerina okutambula.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top