Ebyobufuzi

Looya ayogedde kubya Ssegirinya ne Ssewanyana

Looya ayogedde kubya Ssegirinya ne Ssewanyana

Munnamateeka era omubaka akikirira mukono North mu palamenti kiwanuka Abudalh Mulimamayuuni ayogedde kumbeera yababaka banna abaggaliwa ku missngo egyenjawulo Ono bwabuziddwa engeri okukwatibwa kwa Ssewanyana ne Ssegirinya gye kibakosezzamu naddala mubyenfuna, Mulimamayuuni agambye nti ekisinga mubyonna kulaba ng’abantu abo bafuna eddembe lyabwe.

Ono agamba nti mubyenfuna, buli omu alina engeri gyakikolamu naye Nga nze Nga pulida amaanyi agasinga obungi tugatadde mukulaba ng’abantu abo bafuluma era Nga bafuna eddembe lyabwe ng’ababaka ba palamenti era basobole okufuna obujanjabi kuba bali mumbeera mbi.

Yagobye nti ebyennyingiza naddala okuva kubukiiko , obusasula Omubaka buli lwatuula , ekyo Kiri eri bukulembeze bwa palamenti obuvunanyizibwa kunsako, wabula gw’omusaala basigala bagufuna ate mubujjuvu ng’ababaka ba palamenti.

Mulimamayuuni yagambye nti okukwatibwa kw’ababaka bano kulaze nnyo obwerere bwa pulezidenti Museveni ne gavumenti ye, kuba yagamba nti azze kulwanirira enkola eya ssemateeka n’okuzzawo enfuga y’amateeka, naye ate y’omu kubatisatisa kooti kunsonga za bailo, nga Kati abantu baffe bangi bongedde okutya okwenyigira mu lutalo olwokugyako n’akyemalira nga bagamba nti olaba ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya balemedde mu kkomera, olwo bbo abataliiko agamba.

Ono era yalaze okutya nti okulemesa ababaka bano mu kkomera kandiba akakodyo ka gavumenti akokwagala okubasigukulula mu palamenti nga bakozesa ssemateeka agamba nti singa omubaka amala emyeezi 9 nga takiika mu palamenti, ekifo ekyo kirangirirwa nti kikalu era w’aba walina okuddamu okutegeka okulonda mubwangu.

Naye bino byonna bibaawo naddala singa omusibe abeera yategezezza spiika, kunsonga endala, omusibe ayinza okuyita mu n’ampala w’oludda oluvuganya  gavumenti n’awandikira spiika ng’amutegeeza embeera omuntu Oyo gyalimu, olwo ebyokulangirira ekifo nti kikalu eba teyinza kubawo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top