Ebyobufuzi

Lwaki mutusibako ebya bbomu, aba Bobi Wine batabuse

Lwaki mutusibako ebya bbomu, aba Bobi Wine batabuse

Abakulu mu kibiina Kya National Unity Platform ekikulemberwa  Robert Kyagulanyi Ssentamu bavuddeyo ne bategeeza engeri ebibiina kino gye kyetegesemu okuddamu okuwangula mu bitundu kooti gye zalangiridde okuddamu okulonda, oluvannyuma lw’okusazamu abamu kubamemba ba NUP abawangula.

Mu lukungaana lwamawulure olwabadde ku kitebe Kya NUP e Kamwokya, ssabawandiisi w’ekibiina kino David Lewis Rubongoya yategezezza abamawulire nti bayungudde ttiimu ya balooya okuwolereza bannakibiina abaasazeewo okujukira.

Abawangudde emisango gy’obululu mulimu Joel Ssenyonyi owa Nakawa West, Aloysius Mukasa owa Lubaga South, Ono ng’omusango gwaggyibwayo Eugenia Nassolo, Sseggirinya Muhammad Owa Kawempe North, Robert Ssekitooleko Owa Bamunanika, Denis Ssekabira Owa Katikamu North, Fred Nyanzi , Ono ng’akyattunka mu kkoti ne Muhammed Nsereko.

Rubongoya yagambye nti,” Ffenna tukimanyi bulungi omuntu Baagala gw’avuganya naye, bw’otunulira ensala y’omulamuzi olabirawo Ali emabega mu musango guno ne bw’obeera toli munnamateeka okkaanya nti ddala ye Museveni. Ffe aba NUP tugenda kutuula n’omubaka Joyice Baagala okulaba eky’okuzzaako era tusuubira nti tugenda kujulira” bwatyo Rubongoya bwe yategezezza.

Ono era yayogedde ne kukalulu ke Kayunga akokuddami okulonda sentebe wa disitulikiti ekifo ekyalimu Ffeffeka Sseluboggo, n’ategeeza nti akakiiko ka NUP akebyokulondesa nga essawa yonna bwe kagenda okusunsula mwabo abegwanyiza era kalangirire omuntu omutuufu agenda okubakwatira bbendera.

Wabula ensonda ezimu zatugambye nti mu kalulu ka Baagala ku kifo Ky’omubaka omukyala Owa Mittana, waliwo okutya nti ssentebe aliko Kati Mugisha Nshiimye ne ba MP nga Kibedi Nsegumire abawangula mu kitundu n’okwerumaluma okuli mu NUP ate nga NRM erina sente bwe kiyinza obutasobozesa Baagala okuddamu okuwangula akalulu ako.

Rubongoya era asabye akakiiko k’ebyokulonda obutalaga kyekubiira nga bagana aba opozisition okukuba kampeyini n’okutuuka mu bitundu ebimu nga beekwasa nti bakwasisa mateeka ga COVID-19 nga bwe kyali mu kalulu ka January.

Ono era yategezezza nti eby’akarambi k’omuwala we Komamboga akatambula ku mikutu gya sosolo mediya ng’agamba nti ku basajja abasatu abateberezebwa okubeera nga be batega bbomu kwabaddeko eyabadde ayambadde akasaati akamyuufu ak’ekisinde Kya People power nti ye tabyewuunya. Yagambye nti olwo lukwe okukwata aba NUP okuli ne Pulezidenti wabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu asibwe.

Wabula gyebuvuddeko omwogezi wa poliisi mu gwanga afande Fred Ennanga yagambye nti tebasobola kusinziira ku saati omuntu gy’ayambadde okulumiriza ekibiina ekimu nti kye kyabadde mu kutega bbomu.

Ye omwogezi w’ekibiina kino Joel Ssenyonyi yasabye poliisi okunonyereza ku batega bbomu okutandikira mu kitongole Kya Internal Security Organisation (ISO), be balumiriza nti poliisi yavaayo n’ebakwata ng’ebalumiriza okutega bbomu enkolerere eza petulooli.

Ssenyonyi agamba nti seculite erina okuteekayo okunonyereza okw’amazima ate nga ku mulembe gwa kaihura nga ye buli bwe wabaawo obulumbaganyi agenda ku mizikiti ng’akwata abasilamu. Ono era yennyamidde nti emirundi mingi okunonyereza ng’okwo abakwenyigiramu tebakwatibwa nga bwe kyali ku Zebra Mando pulezidenti Museveni bwe yategeeza eggwanga nti seculite yakola ensobi okumutta.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top