Minisita we by’e nsimbi Matia Kasaija naye azizzaayo agamu ku mabaati geyatwala agaalina okutwalibwa mu bitundu bye Karamoja.
Omukungu okuva mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda David Kayongo Mugisha ategeezezza nga omubaka ku mabaati 300 bwasobodde okukomyawo amabaati 298 gokka era nga galeeteddwa ku tterekero lya ofiisi ya katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja e Namanve.
Amabati gano gamukwasiddwa Jamir Tumusiime munnamawulire wa Minisita Kasaija ono nga ategeezezza bannamawulire nga bwebabadde bamanyi nti a mabaati gonna 300 bagaleese
Okuleeta omuwendo ogutaweze, Tumusiime agambye nti tebakigendereredde wabula obuzibu bwandiba nga bavudde mu kugabala
Ono akakasizza nga bwe bagenda okuleeta 2 agasigaddeyo nga wiiki eno tennagwako.
Mu ngeri yemu Mugisha ategeezezza nga Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth bwasasudde ebbanja lye erya mabaati 168 a gaali gaasigalayo era n’akakasa nga bwatakyabanjibwa.
Omuwendo gwababaka abakakomyawo amabati, okusinziira ku Mugisha kati baweze 4 nga n’abalala abaali bagagabanako okuli ne minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba nabo basuubirwa okukola kyekimu oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga okubateeka ku nninga okugasasula