Amawulire

Minisita Kasaija akyabangibwa amabaati 2.

Minisita we by’e nsimbi  Matia Kasaija naye azizzaayo agamu  ku  mabaati geyatwala agaalina okutwalibwa mu bitundu bye Karamoja. 

 

Omukungu okuva mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda David Kayongo Mugisha  ategeezezza nga omubaka ku mabaati  300 bwasobodde okukomyawo amabaati 298 gokka era nga galeeteddwa ku tterekero lya ofiisi ya katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja  e Namanve.

Amabati gano gamukwasiddwa Jamir Tumusiime munnamawulire wa Minisita  Kasaija ono nga  ategeezezza bannamawulire nga bwebabadde bamanyi nti  a mabaati gonna 300 bagaleese

 

Okuleeta omuwendo ogutaweze, Tumusiime agambye nti tebakigendereredde wabula obuzibu bwandiba  nga bavudde mu kugabala

Ono akakasizza  nga bwe bagenda okuleeta 2 agasigaddeyo nga wiiki eno tennagwako.

 

Mu ngeri yemu Mugisha ategeezezza nga Minisita omubeezi ow’ebyokwerinda Jacob Oboth Oboth bwasasudde ebbanja lye erya mabaati 168 a gaali gaasigalayo era n’akakasa nga bwatakyabanjibwa.

 

Omuwendo gwababaka abakakomyawo amabati, okusinziira ku Mugisha kati baweze 4 nga n’abalala  abaali bagagabanako okuli  ne minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba nabo basuubirwa okukola kyekimu oluvannyuma lw’omukulembeze w’eggwanga okubateeka ku nninga okugasasula

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top