Ebyobufuzi

Minisita wabavubuka e Rwanda agobeddwa lwakulya nguzi

E Rwanda, Pulezidenti Paul Kagame akaaye bw’ayimirizza Minisita we ow’abavubuka n’obuwangwa, Edouard Bamporiki  n’amuteekako ne bakkomando obutamukkiriza kufuluma maka ge okutuusa ng’amaze okunoonyerezebwako olw’ebimwogerwako nti yeetaba mu ddiiru ez’obuli bw’enguzi.

Minisita Edouard Bamporiki

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ofiisi ya Katikkiro w’eggwanga eryo, okuyimiriza Bamporiki kwavudde ku kuwa mbalirira eyamulemye okunnyonnyola nga kiraga nti yatigiinya ensimbi z’omuwi w’omusolo, kwe kulagira anoonyerezebweko era ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Rwanda Investigation Bureau.

Bino biri ne ku mukutu gwakyo ogwa Tweeter.

Bamporiki, 39, abadde muwagizi nnyo wa Kagame n’ekibiina kye ekiri mu buyinza era alina amaanyi mangi ku mikutu gya ‘Social Media’, muwandiisi wa bitabo, mukozi wa firimu, era muzannyi wa mizannyo egy’oku leediyo era abadde ku lukiiko lwa kKabineeti okuva mu 2019 era yaliko omubaka mu Palamenti gye buvuddeko.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top