Ebyobufuzi

Mpuuga ategeezezza nti okwetonda kwa Museveni eri Kenya tekumala

Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Mathias Mpuuga agamba nti ekya Pulezidenti Yoweri Kaguta  Museveni okwetondera Kenya ku bya Gen Muhoozi Kainerugaba byeyatadde ku Twitter nga alaga nga bw’asobola okulumba Nairobi nagiwamba mu wiiki biri zokka tekimala.

Owek. Mathias Mpuuga ategeezezza nti singa Pulezidenti Yoweri yabadde agendereddemu kubonereza Muhoozi okumuggya ku kifo ky’omudduumizi w’ amagye g’okuttaka ate teyandimufudde Genero naye yandimusizza ku ddaala.

Ku Mmande Muhoozi yateekawo ku Twitter obubaka obw’enjawulo nga alaga nga bw’asobola  okulumba Nairobi era nagatta Kenya ku Uganda ekintu ekyatabudde abantu ab’enjawulo nebamunenya olw’okunaawuuza entalo.

Okusinziira ku Mpuuga obubaka bwa Muhoozi tebwakomye ku kutyoboola bannakenya naye bwatadde enkolagana ya Uganda ne Kenya mu matigga awamu n’enkola yonna egoberera amateeka ne Demokulaasiya.

Mpuuga agamba nti ebigambo bya Muhoozi  ng’ abadde omudduumizi w’eggye ly’oku ttaka  byazingiddemu ne ggye lya UPDF  mu nsonga ezitalina makulu.

Ono annyonnyodde nti ng’oludda oluvuganya bavumirira engeri Muhoozi gyakozesaamu omutimbagano namaliriza nga atabudde enkolagana ya Uganda ne Kenya.

“Ebintu ebisinga okuyingira mu ggwanga biyita Kenya era tugyesigamyeko okutambuza ebyamaguzi. Ekintu kyonna ekiyinza okutabula enkolagana yaffe ne Kenya kibeera kikosa butereevu munnayuganda yenna waali,” Mpuuga bw’ agambye.

Owek. Mpuuga agamba nti Museveni okudda ku Muhoozi namwongera amayinja ky’alaze nti tafaayo ku kifananyi kya ggye lya UPDF ekirina okukuumibwa nga abajaasi  abakulu abatalina mpisa nga Gen Muhoozi babonerezebwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top