Tekinologiya

MTN Uganda eddizza bakkasitoma baayo

MTN Uganda eddizza bakkasitoma baayo

 

MTN Uganda mu biseera bino ebyeggandaalo ly’ennaku enkulu eddizza ku bakkasitoma baayo ng’esala ku miwendo gy’amasimu og’omulembe agali ku katale. Nga bayita ku mukutu gwabwe ogwa MTN Depo, gwe baakola nga bakwatagana n’abemikago mu kutunda amasimu nga Tecno, Mkopa ne Shop-in-shop, MTN etunda amasimu ag’omulembe ku katale ku miwendo emisaamusaamu. Okugatta kwekyo, kkampuni ya MTN eyanguyirizza bakkasitoma baayo okwegulira amasimu gano era n’eteekawo engeri ebanguyiza okusasula gyebaayita ‘Mpola-Mpola’ ng’eno esobozesa bakkasitoma okusasula ku kibanja mpola buli lunaku, buli wiiki oba buli mwezi.

Somdev Sen nga ono kitunzi kkampuni ya MTN Uganda yagambye nti MTN esobozesa bakkasitoma baayo okunyumirwa ennaku zino enkulu nga bawaanyisiganya ebirabo eri abaagalwa baabwe.

“Tugezaako okusanyusa bakkasitoma baffe nga tuableetera ebintu n’empeereza eziri ku mulembe ku bbeyi ensaamusaamu. Tumanyi nti mu biseera bino eby’ennaku enkulu biba bya kunyumirwa na kwegabira birabo mu baagalana, n’olwekyo tuyambako mu kwanguyiza bannafe okufuna amasimu ag’omulembe ku kibanjampola, baleme kuwulira mugugu gwa kusasula omuwendo ogwa wamu,” bwatyo bweyakkaatizizza.

Enkola y’okusasula mu kibanja mpola eyakazibwako ‘mpola-mpola’ yatandikibwa mwaka guwedde n’essimu y’okuseereza eya MTN Kabode. Eno yali nnyangu nnyo eri agikozesa era nga erina eryanda eriwangaala saako sikuliini eya yinci 5.5 ne kkamera bbiri mu maaso n’emabega ng’ate ekozesebwa ku mutimbagano.

Ebikwatagana ku nkola ya Mpola – mpola era n’engeri gyekolamu

  • Eno esobozesa bakkasitoma okugula essimu nga basoose kusasulako essente entono ddala nebakozesa essimu nga bwebasasula mpola buli lunaku, wiiki oba buli mwezi.
  • Bakkasitoma beetaagisa okusasulako ekitundu ate ssente ezisigadde nezisasulwa mu myezi mukaaga (6)
  • Bokka bakkasima ba MTN beebakkirizibwa okwettanira empeereza eno, naye nga kisinziira ku bbanga lyomaze nga oli kkasitoma ate n’engeri gyewettaniramu okukozesa empeereza za MTN era nga okumanya nti olina obusobozi okuba ku nnamba *165*5*2#.
  • Ng’omalirizza okukebera obusobozi bwo, kikwetaagisa okugenda ku saaviisi senta ya MTN ekuliraanye nokusobola okusasula ekitundu ekisooka wamu n’okulagayo endagamuntu okusobola okufuna essimu eno.
  • Kkasitoma asobola kusasulira ku MTN Mobile Money nga onyiga *165*5*2# nga olondako MTN Depo oba ng’oyita ku appu ya MyMTNApp.
  • Era kkasitoma asasula buli lunaku, buli wiiki oba buli mwezi oluvannyuma lw’ennaku 30 kwewasasulira ssente ezitandika oba eza buli mwezi, oba osobola okukyalirako ku saaviisi senta za MTN okumanya ebisingawo.
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top