Amawulire

MTN eyongedde amanyi mu bavubuka egabye awaadi

BYA abel kawere

Buzz Teenz awards 2021 ezawedde wiikendi eno ewedde ng’abavubuka bafundikira omwaka n’abayimbi wamu ne ba DJ abaganzi nga bino byonna byateereddwamu ensimbi kkampuni ya MTN essukkulumye mu by’empuliziganya nga eyita ku MTN Pulse, omukutu gw’abavubuka mu awaadi ezirudde eza Buzz Teenz awards (BTAs) eyomulundi ogwe 15, mwezuulira abantu abasinze okumatirwa mu kisaawe kyokusanyusa nga mulimu ne TV, reediyo wamu ne ba DJ n’abalala.

Hellen Kirungi nga ono ye Maneja w’ekiwayi ky’abavubuka, yagambye nti abavubuka ba mugaso nnyo eri MTN n’ensi okutwaliza awamu n’olwekyo kyamugaso okubaako omukutu ogujaguza nabo era n’okutuusa eddoboozi lyabwe eri ensi yonna.

                                              Hellen Kirungi, the MTN Uganda Youth Segment Manager

“Tuli basanyufu okuwagira Buzz Teenz awards mwaka ku mwaka kubanga abavubuka twabawa omukutu guno okubajagulizaako ebyo byebatuuseeko n’abo bebeegomba. MTN Pulse eri mu bizinensi ey’okusobozesa n’okuwa abavubuka omukisa okukula era mu BTAs etuyamba okukituukiriza,” Bwatyo Kirungi bwe yakkaatirizza.

Mwana muwala Azawi yeyassukkulumye mu bawala banne okuyimba mu kibinja mwe yasunsuliddwa. Abavubuka era baalonze Pallaso n’asinga mu balenzi, Abeggume Dj Ali Breezy ne Eezzy ye Kolabo eyasinze ate Mbeera olwa Levixone ne Grace Morgan lwe luyimba lw’eddiini olwasukkulumye.

Xfm ye reedio eyaweereddwa award ate ne Xplosion ye pulogulaamu eyalondeddwa nga essukulumye.

NBS After 5 TV yeyasinze ne pulizenta waayo Douglas Lwanga n’assukkirira.

Ate omwana wa Bobi Wine omulenzi Solomon Kampala naye yalabiseeko mu award zino eza 2021 era naye ne yewangulira award eya Teenz fashion star award.

 

Award zino eza BTAs 2021 zabaddemu ebibinja 21 nga kuluno kwagattiddwako ebibinja ebirala bisatu okusobola okusiima ebipya mu kisaawe ky’okuyimba. Eky’abakozesa omukutu gwa TikTok kyawanguddwa Omwana Wabandi olwa Daddy Andre, Mickey Seams 2 Funny ne Brennan Baby nga bwe baddiriŋŋanye. Nessim, Dj Ali Breezy, Liam Voice and Naava Grey nabo baafunye awaadi.

Kirungi yagambye nti okulonda kwakolebwa ku mutimbagano nga bayita ku pulse.mtn.co.ug ne vote.buzzteens.com

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });