Tekinologiya

MTN Uganda ne TECNO ekuleetedde essimu Camon 18

MTN Uganda ne TECNO ekuleetedde essimu Camon 18

Kkampuni y’amasimu ga TECNO emanyiddwa ennyo mu kukola amasimu aga seereza oba gayite ‘smart phones’ ezikwatagana n’omulembe guno, bakuleetedde essimu empya esukkulumye kwezo eziriwo mu kiseera kino. Eno Camon 18 erina kkamera ey’omulembe nga ekuba ekifaananyi wamu n’okukwata obutambi bw’ebifaananyi ebitambula(Video) ebirungi. Erina sikuliini (120 Hz) engazi obulungi ekusobozesa okugikozesa obulungi.

Mw. Shen Timmy ng’ono Maneja mu Kkampuni ya TECNO agamba nti baluubirira kukola kintu kirungi ekicamula ba kkasitoma baabwe ate ekituukana ne tekinologiya ate n’omulembe oguliko. Camon 18 Premier erina ekyenjawulo mu tekinologiya eyagiteekebwamu. TECNO Mobile eyongedde okutta omukago ne MTN Uganda nga bagaba Data eri ba Kasitoma.

“Ne kuluno MTN n’essanyu etegeeza nti essimu ya Camon 18 ejja kuweebwa data GB 3 okumala emyezi esatu egisooka. Eno Camon 18 eteekeddwako Data owobwereere GB 3 buli mwezi okumala emyezi 3 gisooka ku neetiwaaka. Omukago guno gugendereddwamu kwagazisa ba kasitoma okwefunira essimu eno, kubanga mu Uganda tukkiriza nti buli omu asaanira okunyumirwa ebirungi ebiri mu ssimu eno ewundiddwa okutuukana ne tekinologiya w’ebyempuliziganya.” Bino bye byayogeddwa Kitunzi wa MTN Mw. Somdev Sen bweyabadde ayogerako ne Ssekanolya.

Kkampuni ya Vivo Energy Uganda, nga bano beebakitunzi b’amafuta n’ebintu ebikolebwa Shell, nabo beeggasse ku kkampuni ya TECNO Mobile okusobozesa ba kkasitoma baayo okwefunira ku ssimu ey’omulembe, nga kyebalina okukola kwe kugula amafuta ku ssundiro yonna ery’amafuta ga Shell ga siringi emitwalo 5, olwo afune akapapula (kkuponi) akamusobozesa okusalirwako ku muwendo, gw’agulirako essimu, ebitundu 5 ku kikumi bwaba agigula. Obungi bw’amafuta gaagula bwe bungi bwa kkuponi zaafuna era tewali kkomo ku kkuponi zino omuntu z’afuna.

Mw. Mutungi Mark ng’ono maneja mu Vivo Energy Uganda agamba nti “Mu kkampuni yaffe tuluubirira okufuula olugendo lwa ba kkasitoma baffe olwangu. Nga tusemberera ebiseera by’eggandaalo ly’ennaku enkulu, tusuubiira bakkasitoma baffe okwongera okutambula nga bagenda okubeerako n’abagalwa baabwe mu kujaguza ennaku enkulu, nga wano tewali mukisa gusinga kiseera kino TECNO, MTN Uganda ne Vivo Energy Uganda okukakasa nti bakkasitoma baffe bawuliziganya era n’okutambula obulungi nga bagenda okunyumirwa ennaku enkulu”.

Timmy afundikira agamba nti essimu eno eya Camon 18 eri ku katale k’ensi yonna, ya mulembe nti ekusobozesa okugikozesa obulungi. Erina kkamera ey’omulembe etuukana n’ekyo ekyetaagibwa agikozesa. Tekinologiya waayo atuukana n’omulembe era bakkasitoma abagenda okugikozesa bajja kunyumirwa olwa tekinologiya waayo azimbiddwaamu. Essimu eno eteereddwako ebirabo okusobozesa bakasitoma okunyumirwa ennaku enkulu okugeza egula ssente ntono ate n’ebisale bikendeezeddwa, okulambula ekkuumiro ly’ebisolo erya Murchison falls n’ebirala nga bwetunaaba tubabuulira nga tuyita ku mikutu mugattabantu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top