Amawulire

Mulwanirire ebintu bya Ssaabasajja Kabaka, Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Charles Peter Mayiga, asabye abaami b’Amasaza okuva mu masaza 18 aga Buganda, okulwanirira ebintu bya Ssaabasajja Kabaka mu Masaza gabwe era bafube okunyweza obumu mu bantu be bakulembera okwanguya obuweeereza.

Bino Katikkiro abyogedde enkya ya leero bw’abadde asisinkanye abaami ab’Amasaza n’abamyuka baabwe ku Bulange e Mmengo ku Lwokubiri okukuba ttooci mu ntambuza y’emirimu gyabwe.

“Kabaka yatugambye tube bagumu, Omuganda agamba nti ekirya atabaala kyekirya nasigadde eka. Mulwanirire ebintu bya Kabaka. Kyetusaana okwewala  kwe kwelwanyisa, bwolaba nti aba Nnamulondo oba Buganda Land Board olwo ate togenda mu mawulire. Tetusobola kulwanira mu nguudo ffe abaana ba Kabaka,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Ono awadde eky’okulabirako kya Muteesa ow’e Mawogola akoze buli kimu okulwanirira ebintu bya Nnyinimu nasaba Abaami abalala okumulabirako ku bantu abesenza n’okwekwata ebitundu ku ttaka lya Kabaka.

Owek. Mayiga abakuutidde okukungaanya n’okukumaakuma abantu ba Kabaka mu biti eby’enjawulo omuli; eddiini,  emyaka; eby’obufuzi, n’amawanga era bakolere wamu emirimu nga bakwatagana butereevu n’abaami mu ggombolola awamu n’emiruka.

Mayiga agamba nti singa banyweza gavumenti empeereza ez’enjawulo zijja kusobola okutuuka ku bantu abazetaaga olwo Buganda edde ku ntikko kuba eno si ngombo  wabula kulina okubaako nebikolwa ebikakasa kino.

Abawadde amagezi bazimbe n’okunyweza ekitongole ekiwanika kibayambeko mu kutambuza emirimu gya Kabaka.

Katikkiro Mayiga Abaami bano era abakuutidde okulondoola emirimu egikolebwa mu ggombolola zabwe era bakakase nti emirimu gitambuzibwa bulungi era nti nabazirimu batuusa empeereza ku bantu awamu n’okukuuma ebintu bya Kabaka.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu era Ssaabawolereza w’Obwakabaka, Oweek Christopher Bwanika, agambye nti mu emyaka 9 Katikkiro gy’amaze, asitudde Buganda era gy’eraga walabika.

Owek. Mayiga yeebazizza Katikkiro olw’okusisinkananga Ab’Amasaza buli mwaka,  kuba kyongera embavu mu baami ba Kabaka.

Omukubiriza w’ Abaami b’Amasaza bano, Ppookino Jude Muleke ategeezezza nti baliko ekirabo kya Sseddume w’ente kyebawadde Katikkiro Mayiga nga bamwebaza olw’okubakulembera obulungi mu lutalo lw’okuzza Buganda ku ntikko.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });