Ebyobufuzi

Museveni avumiridde abasanyuse olw’okufa kwa Gen. Tumwine

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni atenderezza Gen Elly Tumwine olw’okwagala ensi ye nga kino yakiraga bweyeetaba obutereevu mu lutalo lw’okununula eggwanga natabukira abo ababadde bajaganya olw’okufa kwe.

” Singa Katonda yali atwagala kubeera mu Ggulu, lwaki yandituleese wano? Yatuleeta wano okubaako kyetukola oba olwawo okubaako kyetugattako. Ky’okola ku nsi  kikulu nnyo. Tumwine afiiridde ku myaka 68 abadde akyali muto naye alina bingi byatuuseeko,”  Museveni bw’ategeezezza.

Okusinziira ku Pulezidenti Museveni agamba nti Katonda akola mu ngeri ez’ewuunyisa kuba Gen Elly Tumwine bweyafulumya  essasi eryasooka lyali mu nsobi, era bangi bamutabukira nga bamunenya okufulumya essasi.

Ono asabye abatakkiriza okumanya nti zaali ntegeka za Katonda Tumwine okufulumya essasi eryasooka nga Feb6, 1981.

Pulezidenti Museveni agamba nti  Gen Elly Tumwine tafudde era akyaliwo kuba alese abaana era tajja kusaanawo. Museveni agasseeko nti naye kennyini bwaliba avudde tajja kusaanawo kuba alina abaana era bajja kusigalawo.

Okukungubalira kuno kutandise nakusaba okulembedwamu omulabirizi w’obulabirizi bwe Kigezi Eyawummula omulabirizi Edward Muhima era bwabadde abulira agambye nti abantu abogera ebyobusiru ku Gen. Tumwine bakola kyabwerere kubanga tewali atagenda kukomba ku kufa.

Omuduumizi w’egye ly’eggwanga Gen.Wilson Mbaddi agambye nti Gen. Elly Tumwine abayigiriza ebintu bingi kuluda lw’ebyokwerinda nakakasa nti UPDF egenda kukwatirako abaana b’omugenzi okulaba nga basigala wamu.

Bo abaana  b’omugezi nga bakulembedwamu mukadde wabwe omukyala batendereza nyo Gen. Elly Tumwine olwokulabilira era nti yadde agenze bajakusobola okwebezaawo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top