Ebyobufuzi

Museveni yalonze Mao okubeera Minisita wa Ssemateeka n’Obwenkanya

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yalonze Ssenkaggale wa Democratic Party (DP), Nobert Mao okubeera Minisita w’ensonga za Ssemateeka  n’Obwenkanya nga wakayita olunaku lumu lwokka nga batadde emikono ku ndagaano okukolera awamu.

Okusinziira ku bbaluwa efulumiziddwa ku Lwokuna, ng’eriko omukono gwa Pulezidenti Museveni egamba nti, “Nga nkozesa obuyinza obumpebwa Ssemateeka mu nnyingo  113 (1)  ne 114 (1) eya Ssemateeka wa 1995, nangirira Mao nga Minisita omuggya ow’obwenkanya.”

Kino era Pulezidenti Museveni yakikakasizza nga ayita mu bubaka bweyatadde ku mutimbagano.

Bino webyajjidde nga Ssenkaggale wa DP Mao ne Ssaabawandiisi Gerald Siranda bakamala okusisinkana mu maka g’Obwapulezidenti Entebbe nebakkanya okukolera awamu.

Mu ngeri yeemu, Omubaka Hamson Obua yalondeddwa okubeera Nampala wa gavumenti ng’ekifo kino kibadde kikalu oluvannyuma lw’eyakirimu Thomas Tayebwa okulondebwa nga Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti.

Ye Peter Ogwang yasikidde Obua nga minisita w’ebyemizannyo so nga Beatrice Okello, nga ye mubaka omukyala owa Agago, alondeddwa nga minisita alondoola emirimu gya gavumenti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top