Ebyobufuzi

Nabbanja alopedde museveni *bamafiya Kati bayita mu baminista okunwanyisa. *Museveni amukurizza okugaba ssente

Onjagaza ki nkikuwe nkikuwe Ssabaminista atabukidde Ssemujju Nganda

Ssabaminista wa Uganda Robinah Nabbanja Musafiiri ku lw’okuna lwa wiiki ewedde lwe yatongozza  okugaba sente e 100000/ gavumenti ze yasuubiza okuwa aba bizinesi ezenjawulo abasinze okukosebwa mu muggalo guno ogw’ennaku 42 ezisooka, ng’abantu abasinga babadde baweddemu esuubi nga bagamba nti ziyitirizza okutambulira ennyo kunfudu n’abamu okuziyita gannyana…!

Sente zino nga tezinnagabwa, wasoose kubaawo kusooka omuguwa wakati w’abamu kuba Minisita naddala Minisita obubeezi ow’ekikula ky’abantu …..eyasoose okwemulugunya ng’agamba nti tewabaddewo ntekateka nnungamu egobererwa okugaba sente ezo, nga n’amannya g’abantu agabadde kunkalala mubitundu ebimu tegabaddde ga batuuze mubituundu ebyo, bwatyo n’ategeeza ng’okugaba sente bwe kulina okwongezebwayo wiiki endala.

Wakati mukusika omuguwa wakati waba Minisita ne Ssabaminista, olukiiko olwamangu olwa kabineti lwatudde ku mande ya wiiki ewedde mumaka gw’obwa Pulezidenti e Ntebe. Mulukiiko lino, Ssabaminista Nabbanja Ono era nga yawomye omutwe mu kugaba sente yategezezza Pulezidenti Museveni nti,” Ssebo Pulezidenti nkusaba ontaase kuba mafiya abali Bagala tubaguleko obuwunga ne kasooli, kyokka olw’enkola enkyamu eyagobeeerwa mu covid-19 eyasooka netulaba nga kirungi omulundi guno okugaba sente okusinga emmere enkalu. Ono yagambye nti taata Pulezidenti nkusaba omulundi guno ontase kuba mafiya bano nga Kati bsyingiridde enkalala z’abanaku abalina okuweebwa ku sente za Covid-19.

Ssabaminista yategezezza Pulezidenti nga bwafunye okwemilugunya okuva mu bantu abenjawulo ku bamafiya abakolagana ne ba town clerk okusobola okuwereza bassentebe b’ebyalo ennumba z’essimu bo ze baagala okugendako sente.

Yagambye nti ezimu ku numba z’essimu eziri kunkalala bannanyinizo baafa. Abalala tebamannyiddwa ku byaalo.

Maama Batubanja nga Kati abantu abamu bwe bamuyita yawagiddwa baminista abawerako omuli ne Minisita Baryomunsi eyategezezza nti bassentebe b’ebyalo abamu n’abo bwe bawereddwa okutereza mu nkalala, batandika kugya nguzi mu bantu nga babatiza nga bwe balina obuyinza okubateeka oba okubagya kunkalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top