Amawulire

Njagala okulaba nga obuyinza bukyuka mu mirembe ,Norbert Mao

Norbert Mao azzeemu okukakasa nga bw’ayagala okulaba nga obuyinza bukyuka mu mirembe wakati nga akola emirimu gye.

Mao agamba nti kikulu okulaba nga Pulezidenti Museveni ava mu ntebe mu mirembe eggwanga lisobole okugenda mu maaso.

Bino Mao yabyogeredde mu nsisinkano gyeyabaddemu n’ebitongole by’obwannakyewa mu woofiisi ye nebamuloopera nga bwebayiganyizibwa ebitongole by’ebyokwerinda era nga n’ebimu byaggalwa.

Bano Mao yabasuubizza okutunula mu nsonga zabwe era akole ekisoboka batambuze emirimu gyabwe mu ddembe.

” Oludda kwendi lumanyiddwa lwa mirembe, amazima awamu n’obwenkanya. Bannayuganda bangi balaba nga essuubi eryali mu NRM eryafuuka ekizibu. Abamu bamanyi nga akoleeza omuliro naye ate manyi bulungi okuguzikiza, eggwanga lino liri mu buzibu, terikyuusa nga ku buyinza mu mirembe era kino kyenjagala okuteekako ebirowoozo tutaase obulumi bannayuganda mwebali,” Mao bwe yannyonnyodde.

Bino webijjidde nga abantu ab’enjawulo mu ggwanga basaba wabeewo okwogerezeganya ku kukyuusa obuyinza wabula bino byonna tebivangamu kyamakulu.

Mao agamba  nti wadde waliwo ababuusabuusa naye eggwanga lisobola bulungi okutabagana n’okusonyiwagana era nerikyuusa obuyinza awamu n’okutambula mu mirembe.

Ono asabye bannayuganda okumwegattako basobole okulaba nti obuyinza bw’eggwanga bukyuusibwa mu mirembe awatali kuyiwa musaayi gwa bannansi kuba bangi tebaagala kudda mu ddukadduka.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top