Amawulire

Nnakawere ne mwannyina basiibidwa lwa ttaka lya gavumenti

Rebecca Atoo 25, omutuuze w’e Bohe Adidi Geno  mu disitulikiti y’e Lira y’asimbiddwa mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo era omulamuzi Moses Nabende n’amusindika ku limanda okutuusa nga February 28, lw’anakomezebwawo okuwulira obujulizi mu misango e gimuvunaanibwa .  Omulamuzi okusindika Atoo mu kkomera kiddiridde omuwaabi wa gavumenti Gertrude Apio okuwakanya okusaba kwe n’agamba nti Atoo wa mputtu kubanga baamuyita okweyanjula ku poliisi n’adduka era bamukukunudde mu distukiti y’e Kwania gy’abadde yeekwese.

Mu kirayiro ekyakubiddwa omuserikale D\SGT Charles Mugerwa, mbega anoonyereza ku musango yagambye kkooti nti Atoo ssinga ayimbulwa bayinza obutaddamu kumulabako n’alemesa omusango okuwulirwa bw’atyo n’asaba kkooti aleme kuyimbulwa.

Omulamuzi Nabende okugaana okubayimbulwa gambye nti oludda oluwaabi lumalirizza okunoonyereza omusango guwulirwe ate nga tewali ssuubi nti abawawaabirwa banadda mu kkooti ssinga bayimbulwa kubanga n’okukwatibwa tekubadde kwangu nga oludda oluwaabi bwe lwannyonnyodde.

Atoo avunaaniddwa emisango ebiri okuli okufuna ekyapa ku ttaka lya gavumenti mu lukujjukujju ssaako okwekobaana okuzza omusango. Ono avunaaniddwa wamu ne mwannyina Francis Opio 33, omupunta w’ettaka ku disitukiti y’e Lira ng’abeera mu Irenda Shamber village e Lira.

Kigambibwa nti wakati wa February ne August 2019, baagaba ebyapa ku ttaka erisangibwa ku Plot 3 okutuuka ku poloti 5 mu Bo Emor Irenda estates e Lira ne baliteeka mu mannya ga Rebecca Atoo mu ngeri etali ya mateeka.

Bano baagattiddwa ku balala abaasooka okuvunaanibwa okuli Pabious Otike ne Joel Ogwang nga baayimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Ettaka lino kigambibwa nti abakulu bano bwe baali balipunta baalireka ebbali mu bugenderevu n’ekigendererwa ky’okulyezza ne baliteeka mu mannya g’owooluganda lwabwe Atoo nga bakimanyi bulungi kye bakola kikyamu era ne beekobaana okuzza omusango.

gimuvunaanibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });