Ebyobufuzi

Nobert Mao yategeezezza bannayuganda nti ensi ensubize eri kumpi era ye Musa ayogerwako mu Bayibuli

Ssenkaggale w’ekibiina ki  Democratic Party (DP), Nobert Mao yategeezezza  bannayuganda nti ensi ensubize eri kumpi era ye Musa ayogerwako mu Bayibuli agenda okubatuusaayo nasaba bamunywerereko ayambeko okukyuusa obuyinza mu ddembe.

Bino Mao yabyogeredde  mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku City House mu Kampala okwogera ku ndagaano gyeyakoze ne Pulezidenti Museveni okukolaganira awamu mwebamulondedde okubeera Minisita wa Ssemateeka n’ekitongole ekiramuzi.

“Uganda eri mukwetegekera kukyuusa buyinza kino tukitandiseeko.  Ffe nga DP tuyambako kwanguya ku nsonga eno. Ekibuuzo oba naasobola okubeera Pulezidenti ekyo sikyenfaako. Mukkirize mbeere Musa anabatwala mu nsi ensuubize wadde nze sijja kutuukayo,” Ssenkaggale Mao bweyategeezezza.

Okusinziira ku Mao, agenda kusigala ku ludda oluvuganya asobole okutwala bannayuganda mu nsi ensubize era ogwo gwemulimu gwange. Mao yategeezezza nti kyafa sikubeera Pulezidenti wa Uganda naye ajja kufiirawo okulaba nti Uganda eva mu busibe bwemazeemu emyaka 40 nga tagenda kwonoona kadde konna.

Mao yategeezezza nti mu byaliko kwekulaba nti obuyinza bukyuuka mu mirembe era DP erina omukisa okuddamu okuwandiika ebyafaayo ng’ekibiina ekyayamba Uganda okukyuusa obuyinza mu mirembe era eno yemu ku nsonga lwaki yagattiddwa ku gavumenti.

Ono yannyonnyodde nti nga Opozisoni bamaze obudde bungi nga basaba obuyinza bukyuuke naye buli lwebabadde bagezaako nga tewali kyamaanyi kivaayo nalowooza nti ekiseera kituuse okukyuusa ku bukodyo.

Mao yakizeemu nti DP ekyaliwo era terina gyelaga era nakakasa nti ajja kusigala nga ye Pulezidenti wa DP naye nga ku luno bakweyambisa ne gavumenti okutuukiriza ebigendererwa by’ekibiina.

Ono yabotodde ebyama ng’ endagaano eno eyateereddwako omukono ne Pulezidenti Museveni bw’amaze omwaka mulamba nokusoba nga ekitegeeza akakiiko akakiiko akatambuza ekibiina nga kano kekakola omulimu ku lw’olukiiko olufuzi olw’ekibiina olwa ‘NEC.’

“ Nali mwesimbu  era nabagamba nti njogerezeganya ne Pulezidenti Museveni. Ndi musanyufu n’ekibiina ekitambuza ekibiina kuba okutuuka leero tewali kyama kyonna kyasomolwa, ” Mao bweyalambuludde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top