Ebyobufuzi

Obwakabaka busse omukago naba Co-operative Alliance

Obwakabaka butadde omukono ku ndagaano y’okukolaganira awamu n’ekitongole ekitwala ebibiina by’obwegassi mu Uganda n’ekigendererwa eky’okutumbula obwegassi mu Buganda.

Minisita Omubeezi ow’obulimi n’Obwegassi Oweek Hajji Amisi Kakomo yataddeko omukono kulw’obwakabaka, ate Ssaabawandiisi wa Uganda Cooperative Alliance Ivan Asiimwe nassaako omukono kulwa UCA.

Omukolo guno gwabadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era abakulu basinzidde wano nebasaba abantu okwettanira enteekateeka eno nga Ssaabawolereza Christopher Bwanika yeyabaddewo ng’ omujulizi kulw’ Omumyuka wa Katikkiro Asooka Owek. Twaha Kaawaase Kigongo.

Owek. Bwanika  yasinzidde wano nasaba abantu ba Kabaka okwenyigira mu bweggasi kiyambeko ensi okulaakulana n’okweggya mu bwavu.

Ono yannyonnyodde nti obwakabaka bwetegefu okukolagana ne kitongole kino obweggasi okukunga abavubuka okukola emirimu kiyambeko okutumbula embeera zabwe.

Owek. Bwanika yategeezezza nti kino kyakuyambako okumalawo okusoomezebwa kwebasanga nga Buganda okutuusa empeereza eno ku bantu ba Kabaka era nasaba gavumenti ezzeewo bbanka y’Obweggasi mu ggwanga.

Ye Ssaabawandisi w’ekitongole ki Uganda Co-operative Alliance Ltd,  Ivan Asiimwe yategezezza nga obweggasi bwe bwatandikira mu Buganda nalaga obukulu bw’okukwatagana ne Buganda okukyuusa endowooza z’abantu ku bweggasi.

Asiimwe era yayongedeko nti enteekateeka eno yeetaaga okusomesa abaana b’amasomero ku nteekateeka eno kuba esobola bulungi okubayamba okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.

Ssentebe w’ekitongole ki Uganda Co-operative Alliance,  Kimbowa Peter, yategeezezza nti kati ekitongole kino kifulumya kontayini z’emmwaanyi 200 buli mwaka bwatyo nakubiriza abantu okwenyigira by’ Obweggasi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top