Kino kiddiridde endagaano y’abadde akulira ekitongole kya poliisi ekizikiza omuliro, AIGP Joseph Mugisa okuggwako n’etazzibwa buggya ne yeegatta ku baserikale abaali bakulira ebitongole abaawummula okuli Asan Kasingye , Edward Ochom, Andrew Sorowen n’abalala.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa poliisi nga January 6, 2023 Ochola yalonze SCP James Apora okukulira ekitongole kya poliisi ekizikiza omuliro ekirina ekitebe e Nakivubo okumpi nawaali esaawa ya Kwiini nga yabadde avunanyizibwa ku bidduka bya poliisi ( Fleet Management). Apora y’akulirako poliisi y’okumazzi erina ekitebe kyaayo e Kigo.
Mu balala kuliko CP Franklin Kugonza eyakwasiddwa obuvunaanyizibwa okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku bidduka mu poliisi.
CP Irene Ameri yalondeddwa okukola nga amyuka akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kugulira poliisi ebikozesebwa ( Logistics) ne ACP Masitula Kugonza yalondeddwa okukola nga kamisona avuna anyizibwa kukugulira poliisi ebintu.