Andrew Ojok Oulanyah ow’ekibiina kya NRM yalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda ng’awangudde ekifo ky’omubaka w’e Omoro, ekyali kikiikirwa kitaawe omugenzi Jacob Olannyah eyafa gye buvuddeko.
eyafa gye buvuddeko.
Moses Kagona,yakulidde akakiiko k’ebyokulonda yasinzidde ku disitulikiti y’e Omoro essaawa nga zisoba mu 4:00 ez’ekiro n’alangirira Ojok, n’obululu 14,224.
Simon Tolit owa National Unity Platform (NUP) yabadde owookubiri n’obululu 1,633 ate eyeesimbyewo ku lulwe Terence Odonga n’aba waakusatu n’obululu 532 .
Justine Odong owa Forum for Democratic Change (FDC) yabadde waakuna n’obululu 529 votes ate Jimmy Walter Onen abuuseeyo n’obululu 88 .
Oscar Kizza owa Alliance for National Transformation yasembye n’obululu 63 votes.
Akulira akakiiko k’ebyokulonda aka Electoral Commission, Justice Simon Byamukama, yeebazizza abalonzi olw’okuba ab’eddembe.
Rchard Twodong Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NRM yayozaayozezza Andrew Ojok okuwangula akalulu kano.