Ebyobufuzi

Okukuba abanyu emiggono’kubawambira mu drown byatandikira kumulembe gwa Obote

Okukuba abanyu emiggono’kubawambira mu drown byatandikira kumulembe gwa Obote

Nemo enim ipsam voluptatem quia voluptas sit aspernatur aut odit aut fugit, sed quia consequuntur magni dolores eos qui ratione.

Pulezidenti Museveni bwe yajja mu buyinza mu 1986, yavumirira nnyo enkola y’Obote olw’okulagajjalira eby’okwelinda ne bimuva mu ngalo, abamagye n’abebitongole ebikuuma ddembe ne bafuuka abatemu n’ababbi.

Eky’ababitongole ebikuimaddembe okukuba abantu emiggo n’abamu okubuzibwawo mu mmotoka za drown tekizze kumulembe gwa pulezidenti Museveni  gwokka, Ku mulembe gwa Obote, UPC yalina agavubuka agakubi g’emiggo nga galina n’emmundu, oluvannyuma agaafuuka agaleebeesi agaazigiriranga ababbi (amagye) ebifo n’abantu ab’okubba n’okutta.

Mu biseera ebyo, bannayuganda bangi abataalina musango battibwa mu kye wandiyise ettemu lya gavumenti n’abalala ne babuzibwawo olw’okuba Obote ebyokwerinda byali bimuvudde mu ngalo, era Obote n’aweebwa ne linnya lya Kawenkene eritegeeza omuntu omukyamu ennyo.

Ng’ogyeko gavumenti y’Obote okukuba abantu, n’amawanga omuli Liberia, Sierra Lanka, Kenya ne Zimbabwe eyali ekulemberwa omugenzi Robert Mugabe, abatuuze baayo bevuma gavumenti zabwe okukozesa agavubuka agassaako bi galubindi ebidugavu nga mu kukuba emiggo teri abasinga ng’era basinga kukuba n’okubuzawo abantu abali ku ludda oluvuganya gavumenti.

Ebyo byonna tebyawukana n’ebmeera eri mugwanga okuviira ddala mu biseera bya kampeyini, poliisi bwe yakubanga omukka ogubalagala mubali besimbyeewo kubwa pulezidenti ate n’okukwata abamu kubawagizi babwe, nga nakati bali mumakomera.

Okuwamba n’okubuzawo Abantu nga bakozesa emmotoka ezakazibwako erya drown. Abenganda zabantu abo ababuzibwawo bali mukutya olw’ebitongole ebikuimaddembe okukubagana empawa nga buli kimu ky’egaana okubeera nabo.

Ensonga eno singa gavumenti tegikwata n’obwegendereza, eyinza okuviirako banna Uganda okugya obwesige mubitongole ebikuimaddembe ate n’eggwanga okutabanguka.

Ng’ogyeko abantu bano okukuba n’okubuzawo abantu naddala ab’oludda oluvuganya gavumenti, ekintu kino kyabulabe nnyo eri obutebenkevu bw’eggwanga kubanga kyangu abantu abalina ebigendererwa byabwe okubeegattako ne bakolera ebikolobero mu linnya lya ate ne bavumya gavumenti.

Abakuba emiggo n’abawamba abantu mwenna mujjukire nti fenna twatondebwa mukifananyi kya Katonda ng’era mumaaso ga katonda twenkana. Ssi kilungi kukakana kumunnayuganda munno n’omutulugunya olwebyobufuzi.’omuwuula emiggo ng’akuba ekisolo. Uganda yaffe fenna, era feena tulina okugyeyagalilamu awatali kulwanagana n’akusosolagana.

Soma nelino: Omuduumizi Ateerya Ntama Owa State Research Bureau, Yakuba Kayihura Kibooko E Makerere 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top