Wabalusewo okusiga omuguwa mu disitulikiti y’eKayunga wakati wabagala okufuna Kaadi ye ekibiina kya Nup okuvuganya mukalulu ko kujuza ekifo kya Ssentebe wa distulikiti eno ekya sigala nga kikalu oluvanyuma lwe yali ssentebe waayo Muhamad Ffefeka Serubogo okufa gyebuvudeko.
Kino kidiride akakiiko ke ebyokulonda okufulumya eteekateka yo okudamu okulonda ebifo ebitalondebwamu bakulembeze nabo abafa wakati nga akalulu kawedde kumutendera gwa gavumenti ze ebitundu, nga mu mwemuli ne ekya ssentebe wa disitulikiti y’Kayunga.
Akakiiko we kalagiliride nga abagala ekifo kino mu kibiina Kya Nup bawereradala 12 oluvanyuma lwa abamu okulemererwa okuzaayo empapula nga.muno mwemuli mutabani wo omugenzi Ffefeka Serubogo Jamiiru Kamoga ne Ssengawe Fatumah Nakwanwagi, eya vuganyako ku kyo mubaka omukyaala ow disitulikiti y’eKayunga Harriet Nakwedde,Joel Nakibinga eyadda muntebe ya disitulikiti,Rajab Ssenkubuge, paul Musoke nabalala.
Wabula kirabise nga waliwo olutalo munda mukibiina okusalawo kwana ana kwatira Nup kaadi okusobola okwediza ekifo kino nga kati batandise okweyogera ebisongovu okusobola okwegula eri abakulu mukibiina.
Mulukiiko olwatuula nga 23 August ku Ssukka Islamic Education Centre mu Ggombolola ye Kayunga olwali lugendereddwamu okulonda anakwata wabula lwagwa butaka nga abagala kaadi belumiriza okukolera ekibiina kya Nrm okuyuzayuza Nup.
Mulukiiko luno abamu ku bamemba basaba Nakwedde olwokano aluveemu kuba yali yawabira Nantaba mu kooti okumuba obululu bwa omubaka omukyaala ow disitulikiti y’eKayunga nga ka omulamuzi yagugobye ekintu ekyasajura embeera nebatandika okwelangira.
Mungeri eno waliwo ebyafulumidde ku mikutu migatta bantu nga bilaga okulonda anakwata kaadi ya Nup bwe kwagwaedda era nga Lawyer Ssenkubuge ye yawangula. Kyoka kino kiwakanyisidwa abamu kube eggwanyiza ekifo nga bagamba nti ekibiina tekinasalawo era babibugesa benonyeza byabwe.
Harriet Nakwedde nga yegwanyisa entebbe eno agamba nti ekibiina tekinasawo era bayitiddwa kukitebe kye ekibiina ku lwokubiri basobola okweterezza.
Ono alumirizza Ssenkubuge okweteka mubutaala neyelangira ku kaadi Nakwedde agamba nti ono agenda kumikutu ngamba nti kaadi yagifuna era nti Nakwedde agenda kukozesa taala kyo etaala eliko ekibiina.
Ono yegatiddwako akolanga ssentebe wa distulikiti eno Joel nga naye yegwanyiza entebbe eno naye ategezezza nga ekibiina bwe kitanasalawo kwani anakikwatira bendera kyoka ono ayagala ekibiina kireke amanyi ga abantu gasalewo.
Ono agamba nti kati omulembe gwa abavubuka kuba balaze kyebayinza okukola mukisera ekitono kyebakawerezako.
Abamu kubagala ekifo kino bagala alekere abala bavuganye kubanga abadde avuganya kukyamubaka mu paramenti kyo Bano Nakwedde abanukudde nti tewali tteka mu Nup limugaana kwesimbawo ku kifo kino kasita abeera no obusobozi.
Abawagizi bagamba nti Nakwede bamulwanyisa kulwokuba bamanyi nti amanyi no obuwagizi mubantu agasobola omuwanguza obwa Lc5.
Mukisera kino abantu basatu bebatunuliddwa okuwangula kaadi eno okuli Harriet Nakwedde munamateeka Ssenkubuge ne Paul Musoke eyavuganya kubwa mayor we eKayunga naggwa.
Okusinzira kwa akulira okulondesa mu kibiina kya Nup mu district y’eKayunga.
Yasiini Kamulegeya agabye nti baali bamanyi nti akakiiko ke’ ebyokulonda we kanatukira okufumya eteekateka yo okudamu okulonda nga bamaze okufuna omuntu omu wabula nti balinze ekinava mu lukiiko ku kitebe eKamwokya.
Nga bano bakyeyuza muna Nrm Joseph Owuma eyavuganya omugenzi Ffefeka Serubogo Naye agamba akomawo nga ne ekisinde kya FDC ekipya ki Front Red card kya ndyagala okwegera amanyi mukalulu kano nekisimbawo omuntu.
Okusinzira kukakiiko ke ebyokulonda okulonda Ssentebe wa Distulikiti y’eKayunga kwakuberawo nga 16 December ate okususula abagala ekifo ki o kwakubeerawo nga 2 ne 3 November.