Amawulire

Okuyimbulwa kwaffe tekwalimu nteeseganya yonna ne gavumenti.

Ababaka ba parliament owa Makindye West Allan Ssewanyana n’owa Kawempe North Ssegirinya Muhammed bakukulumidde bannabwe ku ludda oluvuganya gavumenti  ababakudaalira nti okusibwa kwabwe mu makomera bakufunyemu.

Ababaka bano bombi babadde bamaze ku alimanda omwaka gumu n’ekitundu, ku bigambibwa nga government ebalumiriza okukulemberamu ettemu ly’ebijambiya ebyakyaka mu bitundu bye Buddu mu mwaka gwa 2021.

Abantu abasoba mu 30 bebattibwa abalala baasigala n’ebisago eby’amaanyi.

Ababaka bano mu lukungaana bannamawulire olusoose lwebatuuzizza oluvanyuma lw’ebbanga lya mwezi mulamba nga bayimbuddwa Allan Ssewanyana  atulise n’akaaba, ng’agamba nti banna byabufuzi banabwe abavuganya government nabo basuse okweyisa nga abatali bantu, nga babasibako nti baafuna sente okuva mu gavumenti eya wakati.

Ssewannyana agambye nti okuyimbulwa kwabwe tekwalimu nteeseganya yonna ne gavumenti, era kooti yabayimbula esiimye oluvannyuma lw’okuwaayo obukadde bwa shs 20, saako okusingayo passport ye nebayimbulwa ku kakalu.

Ssegirinya Muhammed ye agambye nti tewali muntu gwebaateesa naye mu kubayimbulwa era kibakwasa ennaku bwebawulira ebigambo bino.

“Tewali yatuteeseza, era naffe tetweteeseza kutut.

Ekyatuteesa, kekazito mmwe bannamwulire kemwateekawo, akazito k’abazungu, aba Foot soldiers, embeera y’abalonzi baffe ate n’eddembe lyaffe”

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top