Ebyobufuzi

Okweyimirira kw’ababaka Ssewannyana ne Sseggiriinya kwamwaka gujja 2023

Kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna etaddewo ennaku z’omwezi nga 20 February 2023, lwenaawulira okusaba kw’okweyimirira okw’ababaka Allan Ssewannyana owa Makindye West ne Muhammed Sseggiriinya owa Kawempe North.

Okuwulira okusaba kw’ababaka bano okweyimirirwa kugudde butaka, omulamuzi  Alice Komuhangi Kaukha ali mu mitambo gy’omusango gwabwe, bategeezeddwa nti mugonvugonvu.

Amyuka omuwandiisi wa kooti  Pamela Ocaya Lamunu yataddewo olunaku olwa nga 20 February, 2023 okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.

Abasibe abalala bebavunaanibwa nabo ababadde bagoberera ebigenda mu maaso okuyita ku zoom, nabo balagiddwa okudda mu kooti nga 20 february,2023.

Ababaka bavunaanibwa emisango gy’okwenyigira mu kittabantu eky’ebijambiya ekyaliwo mu masekkati ga 2021 mu bitundu bye Masaka,Lwengo ne Kalungu.

Abantu abasoba mu 30 bebattibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top