Amawulire

Omubaka abotodde ebyama ku by’okwagala Kenzo.

 

Kyaddaki omubaka Phiona Nyamutoro avuddeyo ku bigambibwa nti ali mu laavu n’omuyimbi era Pulezidenti w’ekibiina ekigata abayimbi ekya Uganda National Musicians Federation (UNMF) Eddy Kenzo.

Eddy Kenzo mu kiseera kino talina mukyala amanyikiddwa bukya ayawukana ne mukyala we Rema Namakula.

Wadde Rema yali yakamuzaalira omwana omu, oluvanyuma lw’okwawukana, Rema yafuna omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya era kati yamuzaalira dda omwana.

Kenzo wadde alina abaana 2 okuli gwe yazaala mu mukyala eyasooka n’omwana gwe yazaala mu Rema, talina mukyala amanyikiddwa mu kiseera kino.

Olunnaku olw’eggulo, Matyansi Rodrigo ku mukutu ogwa Twitter, yalaze nti Kenzo ali mu laavu n’omubaka Nyamutoro.

Matyansi agamba nti omubaka Nyamutoro yawa Kenzo emmotoka ekika kya Land Cruiser Proto Tx namba UBK ssaako n’okumuwa ddereeva Nabil.

Matyansi yabadde yeebuuza lwaki Kenzo tavaayo mu lwatu omubaka Nyamutoro okumwanjula mu bazadde kuba amukoledde ebintu bingi nnyo.

Mu Palamenti, Nyamutoro y’omu ku babaka abakiikirira abavubuka ku kaadi ya National Resistance Movement (NRM).

Yavuddeyo okulwanirira abayimbi okufuna ‘Copy Right’ ku nnyimba zaabwe era kigambibwa olw’okuba ku lusegere ne Kenzo, y’emu ku nsonga lwaki yavuddeyo okukola ku nsonga zaabwe.

Nyamutoro yabotodde ebyama wakati we ne Kenzo.

Yagambye nti tayinza kakasa oba ddala Kenzo mukwano gwe wabula amumanyi ng’omuyimbi kuba abadde amulaba ng’ayimba okumala ebbanga, “I can’t ascertain that Eddy Kenzo is my friend but I know him, I’ve known him for a very long time, I knew him before I became a member of parliament“.

Ebigambo bye, biraga nti wadde Kenzo amumanyi bulungi, tewali bya laavu wadde abantu balina eddembe lyabwe okutambuza ebigambo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top