Amawulire

Omubbi akubye enduulu wa agudde mu kabuyonjo ng’adduka.

 

Omubbi akubye enduulu, agudde mu kabuyonjo ng’adduka

Poliisi e Bweyogerere mu Monisipaali y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso eriko abavubuka betaasiza obutatibwa, abaludde nga batigomya abatuuze mu kubba n’okubaleka nga bakubiddwa.

Abakwatiddwa, baludde nga bakuba abantu obutayimbwa ne ppeeva ne batwala ebintu byabwe, okumenya amayumba era nga batambula wakati w’essaawa 7 – 10 ez’ekiro.

Abakwate kuliko Wamundu Sad nga mutuuze w’e Kireku ne Wansumba Rahim, nga mutuuwe we Bweyogerere Central.

Bonna 2, benyigidde mu kumenya enju ya Nakiganda Shakira nga mutuuze we Bweyogerere ne batwala ebintu omuli

Gas Cooker, Ttiivi, Ppaasi, engoye, woofer n’ebintu ebirala.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Kireku, Hakiza Dickson, ababbi okukwatibwa, kivudde ku Wamundu Sad okugwa mu kinnya kya ttooyi nalemwa okuvaayo, nga yakubye enduulu, abatuuze okumutaasa.

Kyokka ne munne omubbi Wansumba, alemereddwa okubuuka ekikomera, abatuuze ne bakuba enduulu naye ne bamukwata.

Abakwate, bataasiddwa abasirikale era bonna batwaliddwa ku Poliisi e Bweyogerere ku misango gy’obubbi.

Abakulembeze bagamba nti obubbi, busukkiridde mu kitundu kyabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top