Amawulire

Omukazi agambibwa okuvumbika emikono gy’abaana be mu ssigiri akwatiddwa.

Omukazi agambibwa okuvumbika emikono gy’abaana be babiri abato mu ssigiri okuli omuliro n’abookya ng’abalumiriza okubba  enva z’ebijanjaalo, poliisi emukutte.

Bino bibadde ku kyalo Kyabutaika e Kakooge  mu disitulikiti y’e Nakasongola , Justine Namuwonge 27 y’agambibwa okwokya abaana be okuli: Fatuma Nagenda 6 ne Hajara Nassuuna 4 era nga mu kiseera kino, bali mu kufuna obujjanjabi mu Kakooge Health Centre 3.

Abookeddwa bombi bayizi ku ssomero Kamukama Nursery School Kakooge.

Kigambibwa nti bwe yamaze okubookya , emikono, n’abakuumira mu nnyumba ne bavunda kyokka omuzirakisa n’atemya ku poliisi , ne bamukwata.

Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Tweanamazima, agambye nti, okunoonyereza kugenda mu maaso.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top