Omuwala eyabbye essimu ya kasitoma gwe yatwalidde emmere bamutiisizza okumuloga n’ayogera gye yagikwese .
Yasoose kwegaana oluvannyuma yalabye bitabuse n’abuuza nannyini ssimu nti bwe bakusuulira layini obivaako wano we baamukwatidde n’aggyayo essimu ekika kya Ravoz 6 Lite gye yabadde agikwese.
Judith Maureen eyagambye nti alina emyaka 18 ng’abeera Gayaza kyokka nga ogw’okuweereza emmere agukolera mu katale ka Bivamuntuuyo ku Kaleerwe .
Judth Kezabu 21, omukozi mu bbaala ya Mount Pearl esangibwa mu katale ka Bivamuntuuyo yategeezezza nti Maureen yasoose n’amutwalira emmere wabula mu konona esowaani we yabbidde essimu ye ebalirirwamu 900,000/ nga teyakitegeereddewo era Maureen ye yeeroopye bwe yamubuuzizza nti singa afuna layini ye essimu agyesonyiwa .
Yagasseeko nti yamugambye eyabbye essimu agenda kumukola ekintu wano we yatiiridde ne yeeroopayo nti ye yagibbye n’agibawa ne bamukwata
Maureen yagambye nti embeera y’ebyenfuna ye yamuviiriddeko okukemebwa n’abba essimu kuba omulimu bamusasula 3,000 ng’ate taata w’omwana yafa talina buyambi we yasabidde ekisonyiwo ng’era olw’amaze okuwaayo essimu ne bamuleka n’agenda.
Omusango guli ku fayiro nnamba SD REF: SD REF:18/19/7/2023.
Rogers Mulondo maneja w’ebbaala ya Mount Pearl yagambye nti bazze babba essimu za bakasitoma ng’abamu batuuka n’okudduka mu kifo ng’ekisinga okwewuunyisa Maureen yatandika okukolera mu kifo kyabwe mu Febuary w’omwaka guno n’essimu z’abakasitoma we zaatandikira okubula.