Amawulire

Omukazi aweereza emmere ye sassudde na ssimu ya kasitoma.

 

Omuwala eyabbye essimu ya kasitoma gwe yatwalidde emmere bamutiisizza okumuloga n’ayogera gye yagikwese .

Yasoose kwegaana  oluvannyuma yalabye bitabuse n’abuuza nannyini ssimu nti bwe bakusuulira  layini obivaako wano we baamukwatidde n’aggyayo essimu ekika kya Ravoz 6 Lite gye yabadde agikwese.

Judith Maureen  eyagambye nti alina emyaka  18  ng’abeera Gayaza kyokka nga ogw’okuweereza emmere agukolera mu katale ka Bivamuntuuyo ku Kaleerwe .

Judth Kezabu 21,  omukozi mu bbaala ya Mount Pearl  esangibwa  mu katale ka Bivamuntuuyo yategeezezza nti Maureen yasoose n’amutwalira emmere wabula mu konona esowaani we yabbidde essimu ye ebalirirwamu 900,000/ nga  teyakitegeereddewo era Maureen ye yeeroopye  bwe yamubuuzizza nti singa afuna layini ye essimu agyesonyiwa .

Yagasseeko nti yamugambye eyabbye essimu agenda  kumukola ekintu wano we yatiiridde ne yeeroopayo nti ye yagibbye n’agibawa ne bamukwata

Maureen yagambye nti  embeera y’ebyenfuna ye yamuviiriddeko okukemebwa n’abba essimu kuba omulimu bamusasula 3,000 ng’ate taata w’omwana yafa talina buyambi we yasabidde ekisonyiwo ng’era olw’amaze okuwaayo essimu ne bamuleka n’agenda.

Omusango guli ku fayiro nnamba SD REF: SD REF:18/19/7/2023.

Rogers Mulondo maneja w’ebbaala ya Mount Pearl yagambye nti bazze  babba essimu za bakasitoma ng’abamu batuuka n’okudduka mu kifo ng’ekisinga okwewuunyisa Maureen yatandika okukolera mu kifo kyabwe mu Febuary w’omwaka guno n’essimu z’abakasitoma we zaatandikira okubula.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top