Abamu ku Balangira n’Abambejja ne gye buli eno bakyebuzza ekibadde kikuumizza ekyama kino okumala emyakya 12 ate ne kibotolwa mu lujjudde mu kiseera kino nga Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi 11 ali bweru wa Buganda e Germany gy’agambibwa okubeera nga yagenda okulaba bannamikago okwogera okusakira Obuganda n’okulaba ku basawo be abakugu.
Kabaka amaze ebbaga ng’asoomoozebwa mu mbeera ez’obulamu okuva Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yavaayo n’agamba nti Omutanda yalwala alaje obulwadde obuva ku nfuufu n’empumbu y’ebimuli, era nga gye buvuddeko yakyusizza ne mu kiraamo n’awa obuyinza abantu abamu n’okuwanduukulula abamu ku biwandiiko eby’ekyama naddala entambuza ya ssente e Mmengo ne mu Lubiri.
Ffe ng’abazzukulu twebuuza nti waliwo ekikwekebwa oba okwagala okwawula Abaganda ku kubanja ebifa ku bulamu bw’Empologoma emaze ebbanga ng’eri bweru wa nsi yaayo nga kati kye kivuddeko okufulumya akatabo omuli okwasanguza abaana abalongo kati abawezezza emyaka 12 egy’obukulu okuwugula ebirowoozo by’abantu kati babeere mu kwogera ku baana bano.
Omutaka Christopher Kaddu Namutwe.:ow’e Misindye ow’omukaaga nga bano be bamu ku baffamire enguddivu mu Buganda , eyali jajja wa Kabaka Ronald Muwenda Muteebi ll , Ssekabaka Daudi Chwa ll mwe yalina okuwasa yagambye nti ebikolebwa mu Lubiri bibeera bya kyama .
Abalongo ba Nnabagereka okumanyika nti babe era y’abunaanyizibwaako yasoose kukiteeka mu katabo k’obulamu bwe kaatuumye ,’The Nnaabagereka:Queen Sylvia Nagginda Luswata’ , akagenda okutongoozebwa nga March 23 omwaka guno ku mokolo Abaganda gwe beesunga ng’embaga.
Akatabo kano kakwata ku bulamu bwa Nnabagereka okuva bwe yazaalibwa e Bungereza n’aleetebwa mu Uganda nga wa myezi 3 era nga kunyonyi yajjira mu kibaya nga bamusitudde ekyavaako jjajjawe omugenzi Nelson Nkalubo Ssebuggwaawo eyamukuza okumukazaako erinnya ly’akaana ak’omu kibaya.
Nnafuna omukisa ogw’okufuna abalongo:Nnaabagereka mu katabo ke ku lupapula olwa 205 agamba nti , `On December 6,2010 I was blessed with twins –Jade Nakato and Jasmine Babirye born in Kampala Women’s Hospital ,’ nga ne bino byayogedde ebibbuzo kubanga mu ntaputa ey’oluganda bitegezza nti, `Nga December 6, 2010 nnafuna omukisa ogw’abaana abalala ab’obuwala 2 Jade Nakato ne Jasmine Babirye abaazaalibwa mu ddwaaliro lya Kampala Women’s Hospital’ .nga kino nakyo kyongera ebibbuuzo ku balongo bano kubanga mu njogera ennyangu abamu Nnaabagereka bandimusuubidde okuwandiika nti, Nnazaala oba twazaala abaana , ngera ne mu katabo ke kamu bw’annyonnyola obulungi engeri gye yafuna olubuto lw’omumbejja Katrina Ssangalyambogo ne Kabaka Mutebi ll okumukolera entegeka okugenda e Nairobi mu Kenya okukeberwa olubuto n’omwana munda okulaba nga bonna ne maama bali bulungi ne bwe yamukolera entegeka okugenda okuzaalira mu ddwaliro ery’Ekikungu e Bungereza.
Ku bano Nnaabagereka okugyako okugamba nti ,“Nnafuna omukisa ne nfuna abaana ……..’’ Tayogera bingi omwandibadde n’engeri olubuto gye lwamuyisaamu nga ne kino kireetawo ebibuuzo mu bantu abamu nga beebuuza nti,“Abaana ba maama Nnaabagereka?