Amawulire

Jesca Alupo ayogedde ku butabanguko obweyongera buli olukya.

Omumyuka wa president wa Uganda Rtd Major Jesca Alupo alagidde abakulembeze mu kitundu ekyo okulwanyisa obutabanguko obweyongera buli olukya, buzingamya enkulakulana.

Alupo bino abyogeredde Wankole mu district ye Kamuli, ku mikolo gyolunaku lwa’bakyala mu district eno.

Agambye nti obutabanguko mu maka buviiriddeko abaana  abawala okufuna embuto nga tebanetuuka,okufumbizibwa nga tebeyagalidde, n’amaka mangi gasasise.

Asabye abazadde okufaayo obusomesa abaana baabwe kyenkanyi nga tebabasosodde, Busoga efune abakulembeze abobuvunanyizibwa abenkya.

Omubaka omukyala owa district ye Kamuli era nga mumyuuka asooka owa Ssabaminista  Rebecca Kadaga, agambye nti kyannaku okulaba ng’abaana bangi abawanduka mumassomero ku myaka emito, nagamba nti kyongedde okukosa enkulakulana ye bitundu bya Busoga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });