Owek. Hajji Prof. Twaha Kigongo Kaawaase yakubirizza abantu okusooka okwettanira ebyobulambuzi mu nsi yaabwe nga tebanagenda bweru wa Buganda ne Uganda.
Owek. Kaawaase yagambye nti abantu batijjisa nnyo ebyobulambuzi mu nsi zebweru nga bwebabuuzibwa ebyabwe babitankana.
“Abantu abamu balina endowooza nti okulambula olina okutawaana nti noonya Visa, genda ebweru okutumbula eby’obulambuzi. Okutumbula eby’obulambuzi olina kusookera ku byaffe, olina okusooka okutegeera Buganda ne Uganda byerina. Ebyo bwetunabitumbula tujja kuba tukulaakulanya Buganda ne Uganda,” Owek. Kaawaase bweyategeezezza.
Bino Owek. Kaawaase yabyogeredde mu kutongoza omwoleso gwa Buganda ogw’ebyobulambuzi ogwategekeddwa aba Buganda Heritage and Tourism Board ne bannamikago ogunayindira mu Lubiri e Mmengo mu mwezi gwa August, 2022.
Owek. Kaawaase yalaze obukulu obuli mu mwoleso guno eri abantu sekinnoomu abagenda okwolesa naabo abanajja mu lubiri lwabbaffe e Mmengo nakowoola abantu okugwetabamu.
Ye Ssentebe wa Bboodi y’ekitongole kino ki BHTB Omuk. Benon Ntambi yategeezezza nti basuubira abantu abasoba mu 400 okwolesa ebintu eby’enjawulo nasaba abantu okujja okubyerabirako.
Ate Ssenkulu w’ekitongole kino Omuk. Victoria Kayaga yagambye nti omwoleso guno gwa byafaayo kubanga gugenda kugatta ebintu eby’enjawulo okwetoloola eggwanga.
Omwoleso guno gwakutandiika nga ennaku zomwezi 19 -28 August omwaka guno 2022.