Amawulire

Omumyuka asooka owa Katikkiro yasabye abantu basooke balambule ensi yabwe nga tebanagenda bunaayira.

Owek. Hajji Prof. Twaha Kigongo Kaawaase yakubirizza abantu okusooka okwettanira ebyobulambuzi mu nsi yaabwe nga tebanagenda bweru wa Buganda ne Uganda.

Owek. Kaawaase yagambye nti abantu batijjisa nnyo ebyobulambuzi mu nsi zebweru nga bwebabuuzibwa ebyabwe babitankana.

“Abantu abamu balina endowooza nti okulambula olina okutawaana nti noonya Visa, genda ebweru okutumbula eby’obulambuzi. Okutumbula eby’obulambuzi olina kusookera ku byaffe, olina okusooka okutegeera Buganda ne Uganda byerina. Ebyo bwetunabitumbula tujja kuba tukulaakulanya Buganda ne Uganda,” Owek. Kaawaase bweyategeezezza.

Bino Owek. Kaawaase yabyogeredde mu kutongoza omwoleso gwa Buganda ogw’ebyobulambuzi ogwategekeddwa aba Buganda Heritage and Tourism Board ne bannamikago ogunayindira mu Lubiri e Mmengo mu mwezi gwa August, 2022.

Owek. Kaawaase yalaze obukulu obuli mu mwoleso guno eri abantu sekinnoomu abagenda okwolesa naabo abanajja mu lubiri lwabbaffe e Mmengo nakowoola abantu okugwetabamu.

Ye Ssentebe wa Bboodi y’ekitongole kino ki BHTB Omuk. Benon Ntambi  yategeezezza nti basuubira abantu abasoba mu 400 okwolesa ebintu eby’enjawulo nasaba abantu okujja okubyerabirako.

Ate Ssenkulu w’ekitongole kino Omuk. Victoria Kayaga yagambye nti  omwoleso guno gwa byafaayo kubanga gugenda kugatta ebintu eby’enjawulo okwetoloola eggwanga.

Omwoleso guno gwakutandiika nga ennaku zomwezi 19 -28 August omwaka guno 2022.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });