Amawulire

Omusumba w’e Hoima eyawummula, Bp.Baharagate afudde!

Eklezia eguddemu ekiyongobero olwa mawulire g’okufa kwa Bp. Dr. Albert Edward Baharagate 93, Omusumba w’Essaza ly’e Hoima eyawummula.

Omusumba w’e Hoima Rt .Rev. Vicent Kirabo mu bubaka bwe bw’afulumizza mu kiro ekikeesezza leero, ng’ayita mu Cansala w’Essaze ly’e Hoima, Rev .Fr. Dominic Ndugwa  ng’abikira Abakristu  yategeezezza nti omugenzi yafiiridde mu ddwaliro e Nsambya ku Lwokusatu.

Bp. Baharagate yazaalibwa mu maka ga Isidore Kwebiiha ne Febronia Kabana ku ku kyalo Nyamigisa mu disitulikiti y’e Masindi nga February 25,1930.

Yasomera  mu St. Dominic Savio Primary school Nyamigisa ,Masindi ne mu Seminaliyo ya St. John Kitabi mu ssaza ly’Eklezia ery’e Mbarara gye yava okwegatta ku Seminaliyo enkulu ey’e  Katigondo gye yafunira dipulooma mu by’Eddiini.

Yafuna Obusaserodooti mu December 7,1958 ku kigo ky’e Nyamigisa e Masindi era ng’obuweereza yabutandikira St. Leos’s College Kyegoba e Fort Portal ng’omulyoyi w’emyoyo ng’eno gye yava n’asindikibwa e Roma okweyongerayo n’emisomo.

Yafuna ddiguli ey’okubiri mu masomo ga Arts ne PHD mu mateeka g’Eklezia (Canon law) okuva mu Pontifical Urban University.

Yalondebwa Paapa Paul VI okubeera Omusumba w’e Hoima era n’atuuzibwa Ssaabasumba omugenzi Emmanuel Kiwanuka Nsubuga August 1,1969 mu Lutikko y’e Bujumburamu mu kibuga ky’e Hoima ng’adda mu bigere bya Bp.Cyprian Byeitima Kihangire eyali asindikiddwa mu ssaza ly’e Gulu mu biseera ebyo.

Mu 1991, Bp.Dr. Baharagate  yawummulira mu kigo ky’e Nankulabye mu ssaza ekkulu erya Kampala era ng’eno yakola nnyo mu kutumbula ebitone bya bavubuka ng’ayita mu by’emizannyo, okuyimba n’ekibiina ky’obwannakuyewa ekya Uganda Red crossy society.

Dr. Andrew Ssekitoleko akulira eddwaliro ly’e Nsambya yakakasizza mawulire g’okufa kwa Bp. Dr. Baharagate kyokka n’ategeeza nti alipoota enzijuvu ku kyamuviriddeko okufa ejja kukwasibwa abakwatibwako mu Eklezia.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top