Amawulire

Omusuubuzi w’ettaka atiddwa  omulambo ne bagusuula mu lusuku.

 

Ettemu libadde Katakala Kidde cell e Mityana abantu abatannamanyika,  bwe basse Vincent Kiraso, omulambo gwe ne bagusuula mu lusuku lw’omutuuze  Simon Ssaka ng’asaliddwa ensingo , ku kibegaabega ne ku mukono.

Kigambibwa nti baamuttidde mu luguudo ekiro, omulambo gwe ne baguwalula ne bagusuula mu lusuku mmita nga 13 okuva ku mabbali g’ekkubo.

Kirowoozebwa nti oluvannyuma lw’okumutta, bamuggyeeko buli kimu kye yabadde nakyo mu nsawo, era baamulekeddewo kacupa ka waragi poliisi ke yamusanze nako.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu Kya Wamala Racheal Kawala , agambye nti omugenzi nga tannattibwa, aliko be yabadde nabo mu kabuga k’e Bamunaanika .

Ayongeddeko nti ettemu , lyndiba nga lyavudde ku nkaayana za ttaka mu ffaMIRE era embwa bwe yatwaliddwa, yasibidde mu maka ga Harriet Nakalema , nnamwandu wa muganda w’omugenzi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top