Entiisa ebuutikidde abatuuze mu kibuga Kyotera omuvubuka abadde akola ogw’obuzimbi Alozius Lubowa 21 bw’agudde mu kidiba ky’omugagga w’emigaati gya MJ e Kyotera n’afiiramu.
Lubowa mutabani w’abasuubuzi abatutumufu e Kyotera Leonard Kalyango ne Specioza Nabakooza.
Kigambibwa nti asoose kukola mirimu gye okuli; okulima mu poloti y’abazadde be okumpi n’ekidiba kino era olumaze n’agenda okunaabako n’atalantuka n’agwa n’afiiramu.
Poliisi n’abatuuze banyuludde omulambu ne bagutwala ewaabwe ku kyalo Luseese Betelemu okuziikibwa.
