Amawulire

Omwami yasse eyali mukyalawe.

Police ye Jinja eriko omusajja ategerekeseeko erya Salimu gweyigga, kigambibwa nti yasse eyali mukyalawe.

Kigambibwa nti Salim yateeze  Mary Asiyo e Bugembe mu Jinja City, bweyabadde ava ku mulimu ng’adda ewannyina gy’abadde abeera.

Baali bayawukana bwebaafunamu obutakaanya, Asiyo n’anoba era ng’abadde asula wa maamawe e Bugembe.

Okusinziira ku mwogezi wa police mu Busoga ASP James Mubi, Salimu yateeze Asiyo ku kkubo naamufumita namuleka ng’ataawa, era abaddukirize bebaamuyoddeyodde nebamuddusa mu ddwaliro gyeyafiiridde.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top