Amawulire

Owek. Mayiga yeebazizza Ssaabasumba Muzeeyi olw’okutunda erinnya lya Uganda ebweru

Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza emirimu egikoleddwa Ssaabasumba w’ Ekeresiya yaba Orthodox, Metropolitan Leronymos Muzeeyi olw’okutunda erinnya lya Uganda ebweru awamu n’okutumbula embeera z’abantu munda mu ggwanga.

Okwebaza kuno Katikkiro yakukoze ng’akyazizza Ssaabasumba, Metropolitan Leronymos Muzeeyi,  mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

“Weebale kutuweesa linnya ddungi e Tanzania kubanga omukulu ono yamala emyaka 25 nga asumba abantu erudda lwe Mwanza , Bukoba. Uganda emirundi mingi bwojogerako bakujuriza bintu bitali birungi, naye bwetufuna omuntu agenze okukola omuli ogw’ekitiibwa ate nagukola nagunoza, eryo erinnya lisukka kuba Orthodox nofuuka omubaka waffe,” Katikkiro Mayiga bweyategeezezza.

Kamalabyonna Mayiga yamusabye okukuuma enkolagana y’Obwakabaka n’Ekeresiya kuba  yava dda ku mulembe gwa Spartas Ssebanja Mukasa era Ssekabaka Daudi Chwa II n’abawa ne liizi etaalimu bukwakkulizo ku ttaka ly’e Namungoona namusaba okukuuma  obwasseruganda obwo.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga kyamuwendo okulaba nti abantu ab’emirembe egy’enjawulo okuviira ddala emabega nga eddiini zijja kuno baliko abantu abakyatwala obuvunaanyizibwa buno mu maaso okusobola okunyweza n’okukuuma ebyafaayo mu mbala yabyo.

Owek. Mayiga yeebazizza Ekeresiya olw’okutumbula enkulaakulana naddala mu by’omwoyo, ebyenjigiriza n’ebyobulamu kuba bazimbye amalwaliro n’amasomero agawerako.

Ono yamusabye obuteerabira kulwanirira eddembe ly’obuntu naddala abo abanyigirizibwa nga abamusooka okuli Ssaabasumba Yonah Lwanga ne Ssaabasumba Nankyama bwebaakolanga.

Ye Ssaabasumba Muzeeyi yategeezezza nti obukulembeze bwa Katikkiro Mayiga babulaba nga olutindo wakati wabwe ne Buganda era nasaba enkolagana eno egende mu maaso bulijjo.

Ono yannyonnyodde nti balina enteekateeka y’okutumbula ebyenjigiriza ebyeddiini n’ensi eri abantu be ggwanga, okwongera obunyisa enjiri awamu n’okutumbula eby’obulamu okuyamba ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka nga mu kino bagenda kuzimba eddwaliro ly’ abaana era bakwenyigiramu butereevu okulwanyisa akawuka ka Mukenenya.

Ssaabasumba Muzeeyi yategeezezza nti  bakukola nnyo okukubiriza abantu okulima n’okulunda era bagabane obuvunaanyizibwa mukutumbula n’okusomesa obweggasi wonna mu Buganda ne Uganda.

Ekeresiya eno ewagidde emirimu gy’Obwakabaka  nga bagula satifikeeti ya kakadde kamu era nebawera okutwala enkolagana eno mu maaso.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top