Amawulire

Ssaabasajja Kabaka aweereddwa emmotoka eyali eya Ssekabaka Muteesa II ng’ ekirabo ky’ Amazaalibwa ge ag’e 67

Libadde ssanyu Jjerere nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, ajaguza okuweza emyaka 67 mu Lubiri lw’ e Mmengo era asiimye naweebwa emmotoka y’ekika ki Rolls Royce Phantom V ng’eweza emyaka 54 eyali ekozesebwa Ssekabaka Muteesa II ng’ekirabo ky’ Amazaalibwa g’omwaka guno.

Emmotoka eno ey’ebyafaayo yakolebwa Bangereza  era mu Uganda eyasooka okugikozesa ye Ssekabaka Edward Muteesa II mu kiseera weyabeerera Pulezidenti wa Uganda era eno gyeyakozesa nga ava mu buwang’anguse olw’okubanja obwetwaze bwa Uganda.

Eno y’emmotoka erabikira mu ntambi nga Ssekabaka Muteesa II emuggya ku kisaawe Entebbe okumutwalibwa mu Lubiri lwe Mmengo wakati mu bantu abaali bakwatiridde ku makubo buli weyayitanga.

Kinajjukirwa nti oluvannyuma lwa Obote okulumba olubiri mu 1966 nawang’angusa Ssekabaka Muteesa ebintu bingi byanyagibwa nga mwemwali n’emmotoka bweziti 4 nnamba nga esatu tezimanyiddwa gyezaraga .

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga bayingira mu nteseganya ne gavumenti nebagisamba okubaddiza emmotoka eno eyali ekuumirwa mu Kadiyizo lya Uganda Museum era gavumenti nekkiriza negibwa mu 2020 era nebatandika okunoonya ssente z’okugiddaabiriza kuba yali tekyasobola kutambula nga n’ebimu ku byuma byafaayo byayononeka.

Wadde Obwakabaka bwali busazeewo emmotoka eno etwalibwe e Bungereza ku kampuni eyagikola etereezebwe naye kyazuuka nti kino kyali kijja kutwala obutitimbe bw’ensimbi eziwera akawumbi kalamba n’obukadde 700 kwekusalawo okugula emmotoka y’ekika kyekimu nebagireeta kuno era omulimu gwonna gwamazeewo obukadde obuwera 300 biramba.

“ Njagala okutegeeza Ssaabasajja Kabaka nti emmotoka yawedde bulungi era etokota era eri mu mbeera nnungi nga bweyali ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II, emmotoka eno eri mu kiti kyaayo. Twebaza Pulezidenti Museveni ne Kkabineeti olw’okukkiriza emmotoka eno eddizibwe Buganda,” Katikkiro Mayiga bwe yagambye.

Katikkiro Mayiga yategeezezza nti emmotoka ez’ekika kya Rolls Royce endala nazo bakyazigoberera okuzuula wa gyeziri kuba zo zaali za Ssekabaka Muteesa nga omuntu.

Ku mukolo guno era Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka yasiimye emirimu egikoleddwa Prof. Gordon Wavamunno Kasibante mu kuweereza Obwakabaka awamu n’okuyamba abantu Ssekinoomu bwatyo namuwa ejjinja ery’omuwendo.

Oluvannyuma Omutanda yasiimye nagabula abagenyi be n’ekijjulo  wakati mu kusanyusibwa okuva mu kkwaaya ya Buddo SS awamu n’abalala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });