Amawulire

Owk. Katambala Magala yasabye Bannamawokota okwongera omutindo ku byebakola.

Abantu abawangaalira mu ssaza lye Mawokota basabiddwa okulwana bongere omutindo ku bintu eby’enjawulo byebakola kibayambe okweggya mu bwavu basobole okulaakulana nga bafuna akatale k’ebyo byebatunda.

Okusaba kuno kukoleddwa omwami wa Kabaka akulembera essaza Butambala, Katambala Sulaiman Magala bweyabadde mu mwoleso ogwategekeddwa ku mbuga y’essaza e Butooro mu ggombolola ye Kammengo mu disitulikiti ye Mpigi.

“Obuyiiya obw’ekika ekikambwe nti ggwe buli kyolabye ogezaako okukyongerako obuyiiya olwo ate okiggyemu ekirala bwebutyo bwetujja okutambula, ” Katambala Magala bwe yategeezezza

Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Mawokota, Kayima Gabriel Kabonge nga yakulembeddemu enteekateeka eno yasiimye bonna aboolesezza mu  mwoleso guno nabonna abataddemu ensimbi okulaba nga gubaawo.

Yasabye banamawokota okwongera okussa essira mu kutumbula eby’obulambuzi bye Mawokota byongere okuleeta abalambuzi mu ssaza lino nayanjula enteekateeka y’okusimba emmwaanyi yiika 500 ku ssaza mu nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba.

Akulira ebyobuwangwa n’ennono ku lukiiko lwe ssaza Mawokota  Birungi Elizabeth yalambuludde ebintu ebiri ku ssaza Mawokota era nasaba Bannamawokota okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda.

Abayolesezza abenjawulo beeyamye okukolera awamu n’Obwakabaka okutumbula ebyobulimi basobole okukyusa ebyenfuna byabwe.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top