Munna NRM ow’ettuttumu mu Mpigi Peter Caveeri Mutuluuza alangiridde bw’annyuse eby’obufuzi ng’agamba nti by’akozeeko bimala k’alekere ne ku balala bakwate mu nkasi.
Mutuluuza nga yakiikako mu Palamenti ebisanja bibiri ng’akiikirira abantu ba Mawokota North wabula mu 2011 n’ameggebwa Amelia Ann Kyambadde.
Ate mu 2016, Mutuluuza n’awangula entebe ya LCV eya disitulikiti yonna eya Mpigi kyokka 2021 n’emuggyibwako owa NUP Martine.
Mutuluuza asinzidde mu nsisinkano ne bannakibiina n’alangirira mu lwatu nti eby’obufuzi abinnyuse takyaddayo kwesimbawo ku kifo ky’ebyobufuzi kyonna.
Agambye nti yeenyumiriza mw’ebyo by’akoze ebiraga omukululo gwe mu by’obufuzi n’agumya abawagizi be nti ye mumativu nti annyuse bulungi.
Mutuluuza anokoddeyo kalina gye yazimbira abantu abakoozebwa nakawuka ka siriimu okufunirawo eddagala giyite Heart Clinic nti buli lw’agitunuulira awulira essanyu n’addiza Mukama ekitiibwa kye.
Yeebazizza ssentebe wa LCI ow’omwalo gw’e Kamaliba mu Lwera, Sulaiman Kaweesi olw’okugatta NRM ebadde etaagusetaaguse n’amusuubiza okumuwa obuwagizi bwonna.
“Ssebo Kaweesi, ndi mabega wo mu lugendo lw’okutte olunaakutuusa mu ntebe y’ekibiina kyaffe ekya NRM eya disitulikiti era ntuma omulimo gwonna gw’oyagala nkukolere olunaakutuusa ku buwanguzi,” Mutuluuza bw’akkaatiriza.
Asibiridde bannakibiina entanda y’okuba obumu n’okwagalana awatali kweryamu nkwe kuba zibanafuya.