Amawulire

Poliisi erabudde bataata abekebeza endagabutonde.

Poliisi erabudde bataata abagenda okwekebeza Endagabutonde, (DNA ) ,  okukomya okussa abaana ku mitimbagano nga bamaze okukimanya nti ssi baabwe.

Kigambibwa nti bataata abamu, olumala okufuna ekituufu nti omwana oba abaana si babe, abakuba ebifaananyi oba okubakwata ku butambi, n’asindika ku mitimbagano ng’a abeegaana n’okubalangira , poliisi ky’egamba nti kikyamu kuba kulinnyirira ddembe ly’abaana.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti abamu ensonga zino balina okuzikwata kintukikulu,okwewala okulinnyirira eddembe ly’abaana.

Enanga era alaze obwennyamivu, olw’obulwaliro obugenda bubalukawo, ng’ababukolamu balimba nga bwe bakebera endagabutonde  nti kyokka nga tebalina bisanyizo n’abalabula okubwewala.

Agasseeko nti waliwo n’abantu abamu abaweebwa DNA kits okugenda bakeberere abaana awaka , n’alabula nti bino nabyo oluusi biyinza okuwa ebivaamu ebikyamu.

Awadde amagezi bamaama ababeera batamatidde  na kukebera kw’abaana baabwe, okwekubira enduulu ku poliisi, oba okukwatagana ne balooya, basobole okufuna obwenkanya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top